• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

“Bawamba abantu ate ne bakyewaniramu” Katikkiro alabudde ku binyigiriza abantu

Gambuuze by Gambuuze
May 4, 2025
in Amawulire
0 0
0
“Bawamba abantu ate ne bakyewaniramu” Katikkiro alabudde ku binyigiriza abantu
0
SHARES
68
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Musasi Waffe

Lweza – Busiro

Kamalabyonna wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga alaze obwenyamivu olw’ebikolwa ebinyigiriza abantu ebigenda mu maaso mu ggwanga ebikoseza abantu abenjawulo mu mbeera ezitali zimu.

Katikkiro asinzidde ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’ekifo ky’e Lweza ogubaddeko n’okujaguza emyaka 53 ekigo kino gye kimaze, n’alabula ku mbeera ezinyigiriza abantu omuli ekiwamba bantu n’embeera y’enguudo

“Uganda ejjuddemu abeewulira eryanyi, bawamba abantu ate ne bakyewaniramu, Omuganda nno agamba nti atatya musajja munne tawangaala” Owek. Mayiga

Ebigambo bya Katikkiro bino, bijjidde mu kiseera nga Ssebuufu Eddy amanyiddwa ennyo nga ‘Eddy Mutwe’ ng’ono omu ku bakuumi ba Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu, yabuzibwawo mu ngeri etategeerekeka ate ab’ebyokwerinda ne bategeeza nti tebamumnyiiko mayitire. Ono yeegatta ku bantu abalala abazze bawulirwa nti babuzibwawo.

Oluvannyuma ate ekifaananyi ky’ono ‘Eddy Mutwe’ nga talina nviiri wadde ekirevu kyalabikira mu mukutu gwa X ku kibanja ekimanyiddwa nti kya muduumiizi waggye ly’Eggwanga Gen. Muhoozi Kainerugaba, ng’araga nti ono y’amulina era ali mu kuyigirizibwa Runyankore.

Mu mbeera y’emu, Katikkiro era alabudde ne ku nguudo za Uganda ezikolebwa nga tezimalirizibwa mu budde, ekivuddeko obubenje obututte n’obulamu bw’abantu. Kino akireetedde mu kiseera nga mutabani wa nagagga Sudhir Ruparelia amanyiddwa nga Rajiv Ruparelia yafiiridde mu kabenje ku luguudo lw’e Busaabala oluva e Kajjansi okudda e Munyonyo. Ono naye yatomedde misanvu egiteekebwa mu makubo nga gakolebwa.

“Ekizibu kye tulina mu Uganda, bakola enguudo tebazimala, oluguudo ate tebatekaawo bupande bulabula bantu omuntu bwe yandirabye n’amanya nti gy’alaga waliyo obuzibu” Katikkiro annyonnyola

Katikkiro agamba nti enguudo mu Uganda ne bwe zibeera ntono zitya bazimalako ebiseera biwanvu ddala, kyokka bagenda okuzitandika nga ssente bazirina.Bawamba abantu ate ne bakyewaniramu – Katikkiro alabudde ku binyigiriza abantuKatikkiro agamba nti enguudo mu Uganda ne bwe zibeera ntono zitya bazimalako ebiseera biwanvu ddala, kyokka bagenda okuzitandika nga ssente bazirina.

Owoomumbuga agamba nti ebikolwa bino byonna bwe bitateerezebwa, Ensi ebeera ekosebwa nga ne bannansi banyigirizibwa ekiteetaagisa.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist