Bya Noah Kintu
Ssembabule
Poliisi e Ssembabule etandise okunoonyereza ku batuuze abaatwalidde amateeka mu ngalo ne batta agambibwa okubeera omubbi w’ente e Kyabalessa mu ggombolola y’e Lugusuulu.
Bino byabaddewo mu kiro kya Ssande era nga kigambibwa nti abamu ku batuuze abakola ogw’okukuuma ekyalo, baabadde balawuna ekiro ne bakwata Geofrey Kalanda ow’emyaka 29 nga mutuuze ku kyalo ekiriraanye eky’e Nakeleelwe.
Abamu ku batuuze baalumirizza Kalanda okubasuza ku tebuukye ng’abba ebisolo byabwe omuli embuzi n’ente.
Ssentebe w’ekyalo kya Kyabalessa, Ezekiel Mwesigye yagambye nti abalawuna ekyalo baamukubidde essimu ku ssaawa 9 ez’ekiro ne bamutegeeza nti bakutte omubbi wabula ne baddamu ne bamutegeeza nti ono yabadde afudde.
“Ababbi batukooyezza mu kitundu kyaffe kumpi tetusobola kutwala wiiki emu nga tebabbye nte oba embuzi z’omuntu,” Ssentebe Mwesigye bwe yagambye.
Ssabbiiti ewedde abatuuze b’e Kyabalessa beekolamu ttiimu enaayamba okulwanyisa obubbi bw’ebisolo mu kitundu kyabwe naddala mu ggombolola y’e Nayebale mu ebiseera bino nga Ssekkukkulu esembedde.
Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Ssembabule, Apollo Musiime, yasinzidde wano n’asaba abatuuze okwekengera abantu abapya abajja mu bitundu byabwe kubanga obubbi bweyongedde nnyo.
Okusinziira ku batuuze bakaabbibwako ente ezisoba mu 8 n’embuzi 20 mu myezi ebiri gyokka egiyise.
Kitegeerekese nti poliisi emaze okukwata William Tandeka ne banne bwe balawuna ekiro, okuzuula ekyavuddeko omubbi gwe baabadde bakutte okufa.
Wiiki ewedde, abantu abatannategeerekeka balumbye ffaamu emu ku kyalo Nkoma mu ggombolola y’e Kawanda ne babba n’okubaaga ente ezibalirirwamu obukadde 8.