Bya Gladys Nanyombi
Mmengo
Abantu ba Ssaabasajja Kabaka mu bituindu ebyenjawulo, basabiddwa okukuuma obuyonjo kibayambe okubeera abalamu awamu n’okwewala endwaddde eziva ku bukyamu, bakulaakulane.
Okusaba kuno Minista wa Buganda ow’ebyobulimi ne Bulungibwansi, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo, y’akukoze ng’atongoza enteekateeka ya Bulungibwansi ey’omuggundu. Okwogwera bino, asinzidde ku Lubiri e Mmengo olwaleero ku Mmande ku mukolo ogwetabiddwako Mmeeya wa Lubaga, Owek. Joyce Nabbosa Ssebuggwaawo.
“Abantu batambula bakasuka ebikongoliro, amagumba, obuveera, obucupa nga tebafaayo nti oba kye bakola kiyinza okubaviirako akabi, kubanga ebikolwa ebyo byonna bibeera butafa ku bulungi bwansi.” Owek. Nkalubo bw’agambye.
Minisita Mayanja agasseeko nti ekigendererwa ku mulundi guno kwe kulaba ng’abantu ba Kabaka bongera amaanyi mu kuyooyoota olubiri lw’e Mmengo, nga basimba emiti egiyamba okukuuma obutonde ate nga n’abantu basobole okugiwummuliramu.
Owek. Nkalubo alaze ng’Obwakabaka bwe bulina enteekateeka okugabira abantu ba Kabaka mu masaza ag’enjawulo emiti, kiyambe okunnyikiza Bulungibwansi wansi mu bantu.
Asiimye n’Owek. Ssebuggwaawo olw’omulimu amatendo gw’akoze mu kwagazisa abantu enteekateeka eno.
Ye mu kwogera kwe, Owek. Ssebuggwaawo alaze ebirungi ebiri mu Bulungibwansi era n’awa amagezi okukolawo ebibiina bya Bulungibwansi nga batandikira mu Lubaga, n’awa n’obweyamo nti ajja kusobola okubikwasizaako.
Ssaabasajja Kabaka yawaayo olunaku lw’Ameefuga ga Buganda olwa 8/October olwa buli mwaka lukuzibweko emikolo gya Bulungibwansi okusobola okukulaakulanya abantu n’okutaasa obutonde obutaguddwa ennyo.
Mu nteekateeka y’omulundi guno, bannamikago okuli; Naturing Uganda, World Wide Fund for Nature ne Rotary Club- Kampala, bawaddeyo emiti egisoba mu 5,000 gigabibwe mu masaza ag’enjawulo.