Bya Ssemakula John
Kampala
Bannamawulire abakubwa abamilitale nga bawerekedde Pulezidenti wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu okutwala okwemulugunya kwe kukuwambibwa kw’abantu be eri akakiiko k’amawanga amagatte ak’eddembe ly’obuntu bakubye omudduumizi wa Militale Napoleone Namanya mu kkooti nga baagala abaliyirire.
Bano okuli; John Cliff Wamala, Geofrey Twesigye aba NTV Uganda; Josephine Namakumbi owa NBS TV, ne Shamim Nabakooza okuva ku Record TV, batutte gavumenti ne Namanya mu kkooti nga baagala babaliyirire olw’okulinyirira eddembe lyabwe nga bannamawulire nebabalemesa okukola emirimu gyabwe.
Abana waggulu bebakiikiridde bannamawulire abalala abawera 8 abakubibwa abajaasi bano kw’olwo era nga kyategerekeka nti byonnna byebakola byali ku biragiro bya Namanya eyabalagira okukuba obutataliza bannamawulire.
Bannamawulire bano bayise mu bannamateeka babwe aba Kiiza Mugisha and Company Advocates, nebasaba kkooti eragire nti ebyabatusibwako aba Militale mu bukambwe obungi kwali kulinyirira ddembe lyabwe ely’obuntu wamu neribaweebwa ssemateeka wa 1995 mu nnyingo nnamba 29.
Basabye Lt.Col. Namanya avunaanibwe nga omuntu kwebyo byeyalagira basajja be okubatuusaako.\
Era basaba kkooti eragire nti okukuba, okugumbulula wamu nokutwala bannamawulire nga tebalinnya kyali kirinyirira eddembe lya bannamawulire mwebalina okwetaayiza eribaweebwa Ssemateeka.