
Bya Samuel Stuart Jjingo
Bulange – Mmengo
Abantu ba Kabaka okuva mu ssaza lye Kabula bakiise Embuga mu nkola y’ Olutalo okuwagira Emirimu gy’Obwakabaka.
Ggombolola ezikiise kuliko; Ssaabaddu Lyantonde, Mumyuka Kasagama, Musaale Mpumudde, Ssaabagabo Kinuuka, Ssaabawaali Kaliiro
Ku lwa Katikkiro, Omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Oweek. Ahmed Lwasa y’abatikkudde oluwalo luno nebeebaza olw’ okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabw.
Abeebazizza okutambuza Obuganda n’okubukuuma nga bukyaliwo nga bayita mu kuwayo oluwalo lw’agambye nti luyambyeko mu kuyimirizaawo emirimu gy’Obwakabaka omuli ensawo y’ebyenjigiriza, ensiisira z’ebyobulamu, bw’atyo n’asaba abantu ba Buganda balujjumbire.
Oweek. Ahmed Lwasa abakuutidde okulima rmmwanyi basobole okugoba obwavu era mu kino basaanye okwewagira basitule omutindo gw’emmwanyi, bawangane amagezi ku nnima y’emmwanyi ey’omulembe era beeyambise nnyo Minisitule y’ebyobulimi mu bwakabaka bafune amagezi amatuufu ku by’okulima.

Alaze obwennyamivu olw’abatema emiti okwonoona obutondebwensi n’agamba nti ekikolwa kino ssi kirungi kiviiriddeko ebbula ly’amazzi agaliikirira ebimera ekibireetedde okukala.
Wano w’asinzidde n’akubiriza abantu be Kabula okujjumbira okusimba emiti basobole okukuuma obutondebwensi.
Minisita Israel Kazibwe Kitooke, akiikiridde Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, asabye ab’e Kabula okwefumiitiriza ku bubaka bwa Kabaka obw’amazuukira naddala abantu okujjukiza abakulembeze be baalonda nti be baabatuma okubakiikirira era basaanye okubawuliriza, mukoka n’obujama obusasaanidde mu Kampala, Gavumenti n’abakulembeze obutatuukiriza bisuubizo eri Obwakabaka era asabye Ow’Essaza Kabula Lumaama David Luyimbaazi addeyo awuliziganye n’abakulembeze b’eyo ku bintu bya Buganda ebitannaddizibwa.
Lumaama David Luyimbaazo Kiyingi, yebazizza Obwakabaka okubasoosowaza mu by’enjigiriza bwe baatandikawo essomero ly’abaana abato erya Lumaama nursery School, ne beebaza okutambulira awamu n’obwakabaka.
Lumaama aloopedde Katikkiro nga bwe bakyalina obunafu mu bukulembeze naddala ku mitendera gya wansi ekiviiriddeko okuleeta oluwalo olutono, n’asuubira nga bwe bagenda okunogera e kizibu kino eddagala.
Ggombolola zonna awamu zireese oluwalo bwa bukadde mukaaga.