Bya Racheal Namuli
Entebbe
Bannaddiini mu kibuga ky’e Ntebe basabye omukulembeze w’eggwanga aggulewo amasinzizo okusobola okukendeeza ebikolobero ebyeyongedde mu ggwanga.
Bano bagamba nti abantu baweddemu omutima ogutya Katonda olw’akaseera amasinzizo ke gamaze nga maggale ne basaba Pulezidenti Yoweri Museveni agaggule basobole okubalyowa emyoyo, badde eri omutonzi.
Okusinziira ku Rev. Nathan Mulondo ng’ono y’asumba ekkanisa y’Omutukuvu Apollo esangibwa e Nkumba, ategeezezza nti abantu bangi beenyigidde mu bikolwa ebyettima n’obukaba olwokubulwa entiisa ya Katonda.
Ono agamba nti amasinzizo tegakoma ku kulyowa myoyo wabula galina n’enkola ebudaabuda abantu awamu n’okwenenya eyamba ennyo abantu ne bagumira embeera y’okusoomoozebwa mwe babeera bayita.
Ate ye Omusumba w’ekkanisa ya Kingdom Faith Church, Charles Kayisali Kiwanuka naye agamba nti ekkanisa ky’ekifo ekiyamba ennyo abantu okweggyako ebirowoozo ebyekko era n’ategeeza nti ekkanisa erina enkola egoberera amateeka agaatekebwawo ministule y’ebyobulamu ekyasinze okubeera ennung’amu, nabwekityo asabye gavumenti eggulewo amasinzizo mu bwangu.
Kati ekirindiriddwa kwe kulaba oba Pulezidenti Museveni anaggula amasinzizo gano ekiro kya leero, bw’anaaba ayogerako eri eggwanga ku biragiro ebiggya eby’ekirwadde kya Ssennyiga Corona.