
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga asabye bannabyabufuzi ku mitendera gyonna okwewala okubuukira buli nsonga n’okujoogerako era bwebaba bavaayo okwogera boogere ebyo ebiweesa Ssaabasajja Kabaka ekitiibwa.
Bino Katikkiro Mayiga abitegeezezza abakulembeze abalonde okuva e Busujju ne disitulikiti ye Mityana abakiise embuga okuwoza olutabaalo leero ku Lwokusatu ng’ ensisinkano ebadde mu bimuli bya Bulange wano e Mmengo.
“Mbasaba mukole era mwogere ebiweesa Kabaka ekitiibwa. omukulembeze abantu nga bakwesiga toyogera bitatuuse, tobakira bigambo, topapiriza kuwa ndowooza yo ku buli kintu ekiba kiguddewo kuba mukukola ekyo mwokolera ensobi,” Katikkiro Mayiga bw’abalabudde.
Bano abajjukiza nti ebifo byebabalina babibeeramu akaseera katono so nga abantu babeera bajjukira ebyo byebayogera awamu n’okukola era abamu bali balozezaako ku kibabu ky’okubaboola naye kino kijja lwa bikolwa nabigambo byabwe.
Abasibiridde entanda okwewala okuvumbeera ku nsonga za Buganda era bafube okutwala mu maaso omumuli ogwabawanguza akalulu era bakimanye nti eby’obufuzi si kuyisa budde oba akazanyo naye babyenyigiremu n’ekigendererwa ky’okuleetawo enjawulo.
Katikkiro Mayiga abasiimye okujja embuga kuba munnabyabufuzi omulungi afaayo okumanya abantu abaamutuma bye bettanira era nga mu Busujju ne Mityana disitulikiti baagala nnyo Obuwangwa n’ennono wamu ne Ssaabasajja Kabaka.
Omubaka omulonde owa Busujju, David Kalwanga ategeezezza nti beesunze okutambulira awamu n’Obwakabaka era neyeebaza Katikkiro olw’okuvaayo okulwanirira eddembe ly’abavubuka abakwatibwa nebaggalirwa awatali musango.
Ono yeemulugunyiza nga ekitundu kyabwe bwekyongedde okulumbibwa abasatuusi nga bano bayambibwako abaganda abakolanga ba bbulooka olwo nebatandika okusengula ebyalo mu bitundu ebyenjawulo.
“Mityana disitulikiti eri kumpi nnyo kyova olaba abaagala okunyigirizibwa bannabwe banguyirwa. Ssebo tewali agenda kuva Buganda agende agule mu mambuka, buvanjuba oba bugwanjuba naye ate abava eri banguyirwa okumenyamenya wano, taata yongera oyogereko abasatuusi sipiidi ekendeere,” Omubaka Lukyamuzi bw’agambye.
Omwami wessaza Busujju Kasujju Mark Jjingo Kaberenge II, nga ayanjulira Katikkiro abakulembeze mu Ssaza lyatwala ategeezezza nti ekibareese kwekuwoza olutabaalo embuga era n’okwongera okubangulwa ku nkolagana yaabwe n’Obwakabaka nga banyweza ensonga ssemasonga 5.
Ono avumiridde omuzze gw’abavubuka abatalina mpisa abeesomye okuweebula Obwakabaka nga bayita ku mitimbagano wabula nasaba bakozese bulungi amaanyi gebalina nga bazimba Obwakabaka.
Abakiise embuga kubaddeko ababaka ba Palamenti, bassentebe ba disitulikiti awamu ne bakkansala abalonde.









