Bya Yusuf Muwuluzi
Masaka-Buddu
Bannamasaka naddala abawangaalira mu ssaza lya Buddu okuli bannabyabufuzi ku mitendera egy’enjawulo bafungiza okugogola n’okuyonja ekibuga Masaka nga bakola Bulungibwansi ku buli nkomerero ya mwezi.
Ku bano nga kuliko; olukiiko olufuzi olw’essaza, Mmeeya omulonde owa Masaka, Florence Namayanja, bakkansala n’abantu ssekinoomu bebamu ku beesowoddeyo okwenyigiramu.
Olwa leero bano bawaddeyo ebinakozesebwa mukutongoza bulungi bwansi nga 27/3/2021 mu Buddu owabuli lwamukaaga olusemba mu mwezi okusobola okutumbula obuyonjo.
Ppookino Jude Muleke yeebazizza abo bonna abawadeyo wabula nakkattiriza obwetaavu bw’emmotoka y’ essaza era n’asaba abakakiiko ka Bulungi bwansi okupanga okufuna emmotoka eno okusobola okwanguya emirimu.
“Bulijjo Buddu mubeera kyakulabirako, n’olwekyo nemukino tubekyakulabirako” Ppookino Muleke bwatyo bwakowodde Bannabuddu.
Ate ye Mmeeya omulonde owa Masaka City, Florence Namayanja ategeezezza nti nga Masaka City bakutambulira wamu n’Obwakabaka okutumbula embeera z’abantu ba Beene mukitundu kino.
Namayanja annyonnyodde nti bakwatagana n’abakulembeze ba Buddu nebakkanya okukola Bulungibwansi okukuuma omutindo gw’enguudo wamu n’emyala mu kitundu kino wamu n’okukola obuyonjo mu bifo eby’olukale.
“Omwezi ogunadako tugenda kusimba miti era tusaba abalundira mukibuga obutata bisolo byabwe kutayaayiza mukibuga kuba bijja kulya emiti gyetunasiimba” Namayanja bwatyo bwayondekeko
Ate ye omumyuka ow’okubiri owa Ppookino era avunaanyizibwa ku Bulungi bwansi Perinento Yiga asabye Mmeeya omulonde okuttukiza enkola y’okugula engoma ku buli kyalo enakowoolanga abantu.