Bya Ssemakula John
Kampala
Ababaka ba Palamenti abatuula ku kakiiko k’eddembe ly’obuntu balagidde eggye lya UPDF okubawa olukalala lw’abawagizi ba National Unity Platform (NUP) abasimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa.
Ku bano kuliko abawagizi ba Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) abaakwatibwa mu kkampeyini wamu n’abo abaakwatiddwa oluvannyuma lw’akalulu ka 2021. Bw’abadde ayanukula ababaka leero ku Lwokuna, omwogezi w’amagye, Brig Gen. Flavia Byekwaso, asabye aweebwe akadde asobole okuleeta olukalala olulaga abavunaaniddwa nabo abatannaba.
“Abantu be tulina bawera 177 era olwo lwe lukalala olwaweebwa Palamenti. Naye okuva ku olwo ne leero wali ebintu ebizze bikyuka,” Byekwaso bw’agambye.
Kino kiddiridde omubaka wa Kawempe North, Latif Ssebaggala, okwemulugunya ku muwendo gw’abantu ba bulijjo omungi oguvunaaniddwa mu kkooti y’amagye.
“Tuyambe tusobole okutambulira awamu okututegeeza omuwendo gw’abantu ba bulijjo abavunaaniddwa mu kkooti y’amagye.” Ssebaggala bw’abuuzizza.
Akulira ensonga z’amateeka mu UPDF, Brig Gen. Godard Busingye annyonnyodde nti abawagizi ba NUP babavunaanira mu tteeka lya UPDF erya 2005 era buli kimu kiri mu mateeka.
Ssentebe w’akakiiko kano era omubaka omukyala owa Bugiri, Agnes Wejuli Taaka, awadde amagye obutasukka lunaku lwaleero nga bamaze okuwaayo olukalala olwo.
Ababaka bategeezeddwa nti waliwo bannamawulire babiri abaakwatibwa ne Kyagulanyi e Kalangala abakyaggaliddwa okuli Musa Mulimira ne Richard Kalema.
Ku nsonga eno, Omubaka w’amagye, Brig Gen. Felix Kulaigye ategeezezza nti bannamawulire bano baggalirwa oluvannyuma lw’okulemwa okulaga ebiboogerako nga bannamawulire.
Byekwaso ategeezezza nti baakwataganye ne bannamawulire abaakubwa mu kalulu ne bwekaali kawedde okulaba bwe babayambamu era n’akakasa nti bakyalabirira munnamawulire wa Reuters James Akena eyakubwa mu 2019.
Ono agasseeko nti nga UPDF balina eddimu okutereeza byonna ebyasoba era bakukola buli kimu okulwanirira ekifaananyi kyabwe.