Bya Ssemakula John
Buddo – Busiro
Abaami ba Kabaka mu ggombolola ye Nsangi ne ttawuni kkanso y’e Kyengera balabudde gavumenti obutagezaako kuddibya ttaka lya mayiro kuba Buganda kweyimiridde era nga mwemuva ekitiibwa kya Kabaka ekya Ssaabataka.
Bano bino babyogeredde Buddo ku kasozi Naggalabi n’ebifo eby’enkizo ebirilaanyewo bwebabadde bakola Bulungibwansi okwetegekera amatikkira ga Beene aga 28.
“Akwata ku mayiro anoonya bibye, ffe tulina obuvo n’obuddo. Bannaffe tebalina buvo na buddo era kyetulina okukuuma kyekyo. Tutandika n’omutaka, abataka ne Ssaabataka, so Ssaabataka tasobola kubeera waggulu eyo ng’ettaka teririiwo” omwami wa Kabaka atwala eggombolola ya Nsangi Mathias Wasswa Kutanwa bwe yagambye.
Ono awagiddwa Mmeeya wa Ttawuni kkanso ye Kyengera Mathias Walukagga naye nalabula gavumenti ku kikolwa kino kyagamba nti kigenda kutabangula eggwanga kuba Buganda tejja kusirika busirisi.
Wasswa era asabye abantu bulijjo okutwala Naggalabi ng’ekifo eky’enkizo era bafube okulaba nga bakuuma ekitiibwa ky’ ekifo kino ebbanga lyonna.
Mu kulambula kuno, Ssemanobe owa 26 Godfrey Kizito akuutidde abavubuka okukola ennyo baleme kusuubirira mu bya bwerere. Ono era abalambuzza ebifo eby’enkizo ebiri e Naggalabi.
Bano bayozaayozezza Ssaabasajja okutuuka ku matikira ag’omulundi guno era nebeyama okugenda maaso n’enteekateeka ya Bulungibwansi.