
Bya Ssemakula John
Kampala
Akakiiko akalwanyisa obulyi bw’enguzi mu maka g’Obwapulezidenti, akawungeezi k’eggulo baliko abasawo 3 n’abalongoosa 2, be baakutte ku by’okubba eddagala eririna okuweebwa abalwadde ku bwereere mu ddwaliro lino.
Kino kiddiridde abalwadde abawerako okwemulugunyiza akulira eddwaliro lino nga bwetafuna ddagala.
Ku ddagala bano lye baabakutte nalyo kuliko erikkakkanya ku bulumi wamu n’eddagala eriyisibwa mu mpiso nga lino lirwanyisa obuwuka era lino lyonna lisinga kukozesebwa ku balwadde ababeera balongooseddwa.
Eddagala lino libaddeko obulambe obulaga nti lya gavumenti ya Uganda era nti teririna kutundibwa naye ate bano babadde balibbayo ne baliguza abantu mu bulwaliro obutonotono.
Okusinziira ku bakungu b’akakiiko abaakutte abantu bano bagamba nti abalwadde babadde babasindika mu bulwaliro obuliraanyeewo okugula eddagala lino ku nsimbi ennyingi era ng’obulwaliro buno obusinga bw’abasawo ba gavumenti.
Omu ku baddukanya eddwaliro lino, Grace Lubaale, ategeezezza nti okwemulugunya kubadde kususse era n’asuubiza okukola buli kimu okulaba ng’embeera eno teddamu kubaawo.
Lubaale agamba nti abasawo basatu n’abalongoosa babiri be babadde mu kikolwa kino era eddagala babadde balitereka mu bisenge gye bakyusiza wamu ne mu kaabuyonjo, ekintu ekyongera okuteeka obulamu bw’abantu mu matigga.
Oluvannyuma lw’okulondoola ensonga eno, Poliisi n’akakiiko k’amaka g’Obwapulezidenti, abasawo bano yabakutte era n’esobola okununula eddagala lino lyonna.









