Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi mu Kampala ekutte abantu 12 abagambibwa okukwatibwa nga babba omuyindi ne bamutwalako obukadde 5 mu Kampala.
Kino kyaliwo omwezi oguwedde, omuyindi Jiwan Lal, nga mubazi wa bitabo akolera mu kkampuni ya Rigil Agrotech e Kololo, eyali atambulira ku Boodabooda, yazindibwa abasajja abawera 14 abaali batambulira ku Ppikipiki 7 ne batandika okumukuba nga bino byali ku Mawanda Road mu Kampala.
Kkamera z’oku nguudo zaakwata byonna ebyali bigenda mu maaso era oluvannyuma lw’obutambi okufuluma abasuubuzi bangi baafuna entiisa.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi y’eggwanga, Fred Enanga, baasobodde okusikayo obutambi buno era ne bakwata abasajja bano ne baggalirwa.
“Twakutte abasajja 12 ne Ppikipiki ssatu. Abakwate batuyambye okuzuula ekituufu ekyaliwo. Batuwadde amawulire ag’omugaso ku ngeri gye baalukamu olukwe lwonna n’engeri gye babadde balumbamu abantu.” Enanga bw’annyonnyodde.
Poliisi egamba nti bano baali bakimanyi nti omuyindi ono agenda kutambula ne ssente era bajja bamugoberera.
Enanga agamba nti bano bazze babba abantu mu bitundu ebyenjawulo era bagoberera abantu nga bakolagana n’abavuzi ba boodabooda abaliraanyeewo, okuggusa omupango gwabwe.
“Mu bakwate mulimu; Landiroodi abadde abasuza wadde ng’abakulira yadduse oluvannyuma lw’okubuuka ekikomera e Kyengera naye tukyamunoonya.” Enanga bw’agasseeko.
Obubbi buno bwakuba ebituli mu poliisi n’engeri gy’ekozesaamu kkamera zino kuba wadde kkamera zino zibeera zikwata ebigenda mu maaso, naye ate poliisi tevaayo kuyamba bantu bano mu budde.