Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Akakiiko k’olukiiko lwa Buganda akavunanyizibwa ku by’ensimbi katandise okukubaganya ebirowoozo ku mbalirira y’omwaka 2022/23.
Embalirira eno esuubirwa okuba ey’obuwumbi 155 kyokka nga zisuubirwa okweyongerako yakukola ku bintu ebinaaba bigaanye mu mwaka gwebyensimbi 2021/22.
Bwabadde abuulira olukiiko ebituukiddwako nebyetaaga okukolako wamu nokulambika puloojekiti ez’enjawulo Obwakabaka zebutuuseeko, Omumyuka Owokubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ategezezza nti newankubadde nga basuubira obuwumbi 121 mu mwaka gwe by’ensimbi 2021/2022 gunaagenda okuggwako ng’obuwumbi 2 bweyongeddeko okuweza obuwumbi 123.
Owek. Nsibirwa annyonnyodde nti akakiiko kano biki Obwakabaka bwebusimbyeko essira mu mbalirira yebyensimbi eyomwaka 2021/2022 wakati mu kukulaakulana okweyongedde mu mirimu gyobwakabaka.
Ono ategeezezza nti byonna bitambuliziddwa mu nsonga ssemasonga ettaano wakati mu kugoberera nnamutaayika eyabagibwa okutambulirako eyakamala emyaka 4 ngayatandika mu 2018.
Abatuula ku kakiiko kano nga bakuliddwa Ssentebe waako, Prof. Umaru Kakumba n’Omumyuka we Kizito Mulwana basiimye Omuwanika olw’enteekateeka ennungi awamu n’emirimu egisobodde okukolebwa.
Owek. Waggwa yebazizza bannamikago abakwatidde obwakabaka abeyongedde naddala okuva ebweru wa Buganda.
Embalirira eno egenda kusobozesa okumaliriza ennyumba Muzibuazaalampanga, okugulira ab’okubizinga bye Sese eryato, okwongera okugumizza ebyenjigiriza ebyobulamu, okuddaabiriza olubiri lwa Mujaguzo, okumaliriza ebizimbe byobwakabaka omugenda okuva ensimbi okubuwanirira n’ebirala.
Akakiiko kakubiriziddwa Ssentebe waako Oweek Prof. Umar Kakembo era olutuula lwetabiddwamu Ssenkulu wa BICUL Omuk. Roland Ssebuufu, Ssenkulu wa Majestic Brands Omuk. Remmie Kisakye, Ssenkulu wa K2 telecom Omuk. Arthur Mawanda, Ssenkulu wa Namulondo Investments Omuk. Lilian Kaddu Bukirwa, Ssenkulu wa Weerinde Insurance Services Ltd Omuk. Jennifer Mirembe Ssensuwa.