Bya Musasi Waffe
Kampala
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Ennanga, ategeezezza nti baggudde ku bakanyama b’Omubaka Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) abalwanagana ne Poliisi ku kkooti enkulu, emisango esatu era ng’akadde konna bagenda kusimbibwa mu maaso g’omulamuzi.
Bano ababiri okuli; Rashid Kavuma ne Adam Matovu, bakwatibwa ku Lwokutaano poliisi bwe yali egezaako okubalemesa okuwerekera Bobi Wine okuyingira munda mu kkooti okuwulira omusango ogwamuwaabirwa ku kukyusa erinnya ly’ekibiina n’obukulembeze bwa NUP mu bukyamu.
Bano baggalirwa ku poliisi y’e Wandegeya gye bakyakuumirwa n’okutuusa kati.
Ennanga yategeezezza nti okusooka ababiri bano baali babagguddeko omusango gumu gwa kukuba bapoliisi naye oluvannyuma lw’okwetegereza obutambi bw’ebyo ebyaliwo, babagasseeko emisango emirala ebiri okuli; okulemesa abapoliisi okukola omulimu gwabwe wamu n’okukola obuvuyo ku kkooti n’okulemesa abapoliisi okubakwata.
“Twagala okutegeeza abantu bonna n’obubinja obwenjawulo nti buli agezaako okulwanyisa omupoliisi oba okumulesa okukola emirimu gye agenda kukolebwako mu mateeka.” Ennanga bwe yategeezezza olukung’aana lwa bannamawulire ku Mmande.
Ennanga yannyonnyodde nti basuubira fayiro za bano okukomezebwawo okuva ewa Ssaabawaabi wa gavumenti era nga olwaleero oba enkya bano bagenda kusimbibwa mu kkooti babitebye.
Ono yategeezezza nga abakulu mu poliisi bwe baasazeewo okutwala ensonga y’okulwanagana awamu n’okulemesa abapoliiisi okukola emirimu gyabwe nga nkulu kubanga omuze guno gubadde gweyongedde nnyo mu bantu naddala abavubuka ba Bobi Wine.
Kaweefube waffe okwogerako n’Omwogezi w’ekibiina kya NUP, Joel Ssennyonyi ku nsonga eno, yagudde butaka oluvannyuma lw’obutakwata ssimu zaffe.
Wabula kinajjukirwa nti bannakibiina kya NUP bavuddeyo enfunda nnyingi nebanenya abakulu mu poliisi olw’okubasosola n’okubayigganya, ekintu ekibalemesa okukola ebyobufuzi by’ekibiina kyabwe.