Bya Pauline Nanyonjo
Barbirye Angel ye muwala eyasinze mu bayizi 1261 abaatikiddwa ku matikkira ga Buganda Royal Institute ag’omulundi ogwa 20. Ono yamezze banne n’obubonero kiyite CGPA ya 4.80 mu ssomo ly’ebyemisono n’okuwunda (Diploma in Fashion and Design). Yaweereddwa engule okumusiima wamu ne kavu w’ensimbi.

Omulongo Babirye yagabanyeko naffe ku byamusobozeseza okutuuka ku buwanguzi buno nga bwonootera okusoma wano;
Barbirye olowooza biki ebikusobozeseza okutuuka ku buwanguzi buno?
Ekinsobozeseza okubutuukako, mbadde nkolagana nnyo ne banywanyi bange ate nga nsoma buli lunaku era nga nkola byonna ebimpeereddwa abasomesa bange kyokka era nga mpuliriza okuwabula kwonna singa kubadde kuva eri abasomesa bange, newala nnyo okubanyooma.
Ekirala kye siyinza kwerabira ekintuusiza ku buwangizi buno ze mpisa z’enkulembeza mu myaka gino kuba omuntu atalina mpisa yesanga nga addirira buli kiseera, kyentegeeza nti omuntu atalina mpisa y’oyo asula ebweru w’essomero kyokka nga alina kusula munda ne yesanga nga asubiddwa ebintu bingi ekimuzza emabega kale nze empisa ezandimpisiza mu kusoomooza nga okwo ne nzeewala.
Gwe nga omuwala kiki ekyakusikiriza okukola essomo ly’ebyemisono?
Nze nneegombanga nnyo abantu abambala engoye ennungi era nneebuuzanga nti bano bakikola batya, bwe nnatandika okusoma satifikeeti nagamba nti nina okusobola okufulumya olugoye lwe nneetungidde nga lusobola okwambalwa omuntu, era awo wenkolera okusalawo okwo.

Kati otikkidwa, kiki ky’ozzaako?
Ŋŋenda Kyambogo kusoma digiri mu by’emisono wadde nga mbadde nafuna omulimu kyokka gwo nja kuguleka kuba teri kisinga kusoma nga gy’okoma okweyongera waggulu ebintu gye bikoma okugonda nga wano wansi omenyeka oyinza kutuula ku kyalaani sso bwoyongerako digiri wesanga nga gwe okola gwa kulondoola nabkuwabula oluusi nga gwe akulira entambuza y’emirimu olwo ebintu ne byanguwa ate nga ofuna nnyo.
Abavubuka abakyasoma obawa bubaka ki?
Abavubuka abakyasoma mbakuutira okussa omulaka ku byemusoma kuba okusoma ssi kwangu, oyinza okuba n’omuzadde nga akuwa buli kyosaba naye gwe nga omutu naawe olina okwewaayo mu kusoma n’owangula.









