Bya Ssemakula John
Kampala
Eyeesimbyewo ku kkaadi ya Forum for Democratic Change (FDC), Patrick Oboi Amuriat, agaanye okweyanjula ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda nga bwe yayitiddwa n’agamba nti asobola kulabikako ku lunaku lwa Christmas naye kati talina budde.
Amuriat yayitiddwa wamu ne Bobi Wine beeyanjule ku kitebe ky’akakiiko basobole okunnyonnyola lwaki bajeemera ebiragiro bya Ssennyiga Corona nga bakuba enkung’aana ez’abantu abangi.
Wadde Bobi Wine yeeyanjudde, Amuriat yagaanye n’ategeeza nti alina eby’okukola kubanga n’akakiiko kakimanyi bulungi nti ali mu kukuba kkampeyini ng’okuzisazaamu akasisinkane abeera tajja kufuna budde kutuuka mu bifo byonna kuba obudde tewali.
“Akakiiko k’ebyokulonda kakimanyi bulungi nti tuli mu kalulu tetulina budde bukasisinkana. Bw’ofiirwa olunaku luno, oba togenda kufuna budde kudda mu bifo ebyo gy’otatuuse.” Amuriat bw’annyonnyodde.
Amuriat agamba nti akakiiko ke kasazeewo okubasisinkana, bweba baagala okumusisinkana mu buntu nga tebaagala babaka be yaweereza, olunaku lwe basobola okumufunirako ye Ssekukkulu, era nga wano ajja kugendayo abalabe singa kinaaba kikyetaagisa.
Ku nsonga eno yennyini ekibiina kya FDC kivuddeyo nga kiyitira ku mutimbagano gwakyo ogwa Twitter, ne kisaba ab’akakiiko k’ebyokulonda okutegekera omuntu waabwe oluwombo ku Ssekukkulu kuba lugenda kubeera lunaku lukulu.