Bya Miiro Shafik
Kirumba, Masaka – Buddu
Ssettendekero y’Obwakabaka, Muteesa I Royal University etikidde abayizi 590 ku mutendera gwa ddiguli ey’okubiri, ddiguli esooka ne Dipulooma.

Omulamuzi Julia Ssebutinde nga ye Cansala wa ssettendekero mu kutikkira abayizi bano abakubirizza obutaganya kusoomoozebwa kwa ngeri yonna kubamalamu maanyi, ono agamba nti Ensi y’emirimu erimu ebisoomooza bingi kyokka oyo anaalemerako era n’akozesa obuyiiya ajja kuwangula.
“Ensi y’emirimu ejjudde okuvuganya era emirimu ssi myangu kuzuula, muyinza okuyita mu kusoomoozebwa wano na wali, naye ekikulu kulemerako, n’okukozesa obuyiiya okusobola okuwangula” Ssebutinde.
Cansala Ssebutinde alaze obwennyamivu olw’obuntubulamu obutaaguddwataaguddwa ennyo mu Nsi ensangi zino, era bwatyo n’akubirizza abayizi obutakkiriza Nsi kubalamu nsigo ye buntubulamu ebasigiddwamu ku Ssettendekero wabula bagikozese okugatta ku bantu abalala nabo okwesitula.

Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde ano n’akubiriza abatikkiddwa okweyambisa obukugu bwe bafunye okweggya mu bunnya, okusitula ebitundu gye bava n’okusitula abalala bwe babaako Katonda w’abatuusizza.
“Ssettendekero ono nteekateeka ya muwendo mu Buganda kubanga ebyenjigiriza bifaananako emmere gye tulya, era we bitali tetusobola kudda ku Ntikko, kaakati ggwe atikiddwa otegese otegese otya okubaako ky’ogatta ku bulamu bwo? Kiki kye mugenda okugatta ku masaza gwammwe gye muva ate kiki ky’olowooza okukola okuyitimusa ekitiibwa kya Buganda?” Katikkiro Mayiga asoomoozezza abatikkiddwa.
Owek. Mayiga ayozaayozezza abatikkiddwa n’abasaba obutafuna kiwejjowejjo ng’agamba nti bakyalina ebyokutuukako bingi ddala. Wano yebazizza abazadde abafuddeyo okuweerera abaana okubatuusa ku kutikkirwa.
Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko akubirizza abatikiddwa okusoosowaza obuntubulamu mu lugendo lwabwe oluddako okusobola okuwangula ng’akikaatiriza nti obuyivu obutaliiko buntubulamu buvaamu abantu abatamanyi kukola kusalawo kutuufu. Ono era abalabudde ne ku bulwadde bwa mukenenya bongere okubwewala.
Minisita Nakate ayanirizza olukiiko olufuzi olw’ettendekero lino oluggya olukulemberwa Dr. Kasozi Mulindwa, n’ategeeza babalinamu essuubi ddene okusitula ekifaananyi kya ssettendekero ono, okumuteeka ku ddala eryawaggulu.
Prof. Emily Akuno okuva e Kenya mu Jaramogi Oginga Odinga University of Science and Technology y’abadde omwogezi ow’enjawulo ku mukolo guno, asibiridde abayizi abatikkiddwa Entanda ya nsonga enkulu esatu; asabye abayizi okwezuula, okumanya ki kyebali n’okumanya kiki kye basobola okukola ekibafuula ab’enjawulo. Ono yebazizza omukisa ogwamuwereddwa okubaawo ku mukolo guno, yebazizza obukulembeze bw’ettendekero olw’enkulaakulana ne yebaza n’abazadde olw’okuweerera abaana baabwe.
Dr. Kasozi Mulindwa, Ssentebe w’Olukiiko olufuzi olwa ssettendekero ono ategeezeza nti baluubirira okusitula omutindo gw’ettendekero lino naddala nga bateekawo ebizimbe eby’omutindo ku matabi gombi n’okulinyisa omuwendo gw’abayizi. Ono akubirizza abayizi okubeera ababaka abalungi aba ssettendekero ono nga basikiriza abayizi abalala okwewandiisa nayo, naddala nga boolesa obuntubulamu n’obukugu mu bye bakola.
Olukiiko olufuzi olwa Ssetendekero: Muteesa I Royal University lulonze ababaka 6 abagenda okwongera okutumbula erinnya n’ekifaananyi kya University eno.Abalondeddwa be bano;1. Owek. Charles Peter Mayiga2. Owek. Twaha Kaawaase Kigongo3. Owek. Robert Waggwa Nsibirwa4. Owek. Choltilda Nakate Kikomeko5. Omulamuzi Julia Ssebutinde6. Prof. Emily Akuno

Gano gabadde matikkira ga mulundi gwa 13 aga ssettendekero eno mu kiseera kino etunuulidde okwongera okusitula omutindo ku matabi gombi e Kakeeka Mengo n’e Kirumba Masaka, okulinyisa omuwendo gw’abayizi era batuusibweko ebyenjigiriza eby’omutindo.
#MRU13THGRADUATION









