Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi e Mukono ekubye ttiyaggaasi n’omukka ogubalagala okugumbulula abawagizi ba munnakibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu, ababadde bamwaniriza mu Mukono.
Ssentamu akedde leero ku Mmande okunoonya akalulu mu Mukono ne Buikwe, ayitidde ku luguudo Gayaza -Bugerere ng’agenda e Mukono.
Wabula ono bw’atuuse e Nakasajja mu ttawuni, poliisi n’ekuba ttiyaggaasi okugumbulula abantu abakung’aanye mu bungi okwaniriza Kyagulanyi okutuukira ddala mu katawuni e Kalagi.
Rev. Peter Bakulaba Mukasa ng’ono ye yeesimbye ku bwassentebe bwa Mukono, ategeezezza nti bategese ebifo mukaaga, Kyagulanyi w’alina okwogererako eri abawagizi be.
“Nsaba ab’ebyokwerinda baleme kutabula Mirembe gyaffe, balina kukola kimu kukuuma atukwatidde bbendera n’okulaba ng’atambula bulungi.” Bakaluba bw’agambye.
Ebyokwerinda era binywezeddwa mu bifo byonna ebyetoolodde disitulikiti y’e Mukono ne Buikwe era ng’agava e Nakifuma ku kisaawe ky’essaza galaga nga abantu bwe baatandise edda okwesomba okugenda okwerabira ku Kyagulanyi.
Omu ku bawagizi ba Kyagulanyi, Solomon Mutumba, ategeezezza nti kibakakatako okwaniriza omuntu wabwe wadde poliisi n’amagye bagezaako okubalemesa naye tekijja kubagaana kuwagira muntu waabwe.