Bya Ssemakula John
Busoga
Amasasi ne ttiyaggaasi byefuze kampeyini z’Omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu era nga y’akutte bendera y’ekibiina kya National Unity Platform ku bwapulezidenti, bw’abadde atalaaga ebitundu bya Busoga okuwenja akalulu.
Poliisi obwedda ekuba ttiyaggaasi n’amasasi okugumbulula abawagizi ba Kyagulanyi naye nga bano naddala abavubuka bongera kugoberera mmotoka ye wakati mu kuyimba ennyimba ezimuwaana.
Abavubuka bano Kyagulanyi abategeezezza nga bw’agenda okuwa bakadde baabwe essuubi eryaggwaawo olw’obukulembeze bwa Pulezidenti Museveni obubakuumidde mu bwavu.
Kyagulanyi kampeyini e Busoga yazitandikidde mu Mayuge nadda e Iganga wakati mu kubwatuka kwa ttiyaggaasi n’amasasi.
E Mayuge, Kyagulanyi agambye nti, “Mu kiseera Pulezidenti Museveni we yajjira mu buyinza kitange yalina eddembe lye era nga yeeyagala naye w’afiiridde nga yafuuka muddu. Abazadde baffe bangi baggwaamu essuubi, tubaddize essuubi eryo nga tuggyako Museveni.”
Obwedda buli w’atuuka ng’asaba abavubuka okweddiza ensi yaabwe, alaze nga Busoga bwe yalina amakolero naye nga kati bino byafuuka lugero.
Kyagulanyi agamba nti Busoga erima ebikajjo naye bye batalinako buyinza kugereka bbeeyi. Ono asuubizza nti bw’anaafuuka Pulezidenti ajja kuwa abantu b’e Busoga obuyinza okusalwo ku bbeeyi y’ebikajjo.
Kyagulanyi asabye abawagizi be okuggwaayo nga January 14, 2021 bamulonde era bakuume akalulu kaabwe kaleme kubbibwa.