Bya Musaasi waffe
Bannamutimbagano abeegattira mu kibiina Buganda Yiyo Buganda Yange (BYBY) beekozeemu omulimu ne basonda ssente okuteeka amasannyalaze mu Pookino Nursery School essomero ly’Obwakabaka ery’abaana abato erisangibwa ku mbuga y’Essaza Buddu.

“Mukoze omulimu gw’amaanyi ennyo era muwadde Kabaka essanyu” Ppookino Jude Muleke yebazizza nnyo ekibiina kya BUGANDA YIYO BUGANDA YANGE era atenderezza omulimu ogukoleddwa okuteeka amasannyalaze mu bizimbe by’essomero byonna.
Obubaka bwa Ppookino bwetikkiddwa Omumyuka we era avunanyizibwa ku ssomero lino Oweek. Muwanga Dick bw’abadde akwasibwa amasannyalaze agabaweereddwa Ekibiina kya Buganda Yiyo Buganda Yange.
Ye Ssentebe wa Buganda BYBY Dan Munaawa, mu bubaka bwe ajjukiza abantu ba Ssaabasajja Kabaka bonna okukomyawo omwoyo gwa Bulungibwansi kiyambe ensi Buganda okuddamu okubeera ettendo.
Omukulu w’essomero lino n’essanyu lingi yebazizza nnyo abakulembeze ba BYBY wamu n’abantu bonna abatodde okulaba nga essomero eryo lifuna amasannyalaze.

Era ekibiina kino kitonedde abayizi ebikozesebwa mu kusoma eby’enjawulo omulimu: Ebitabo, Pencil, Manira Paper, Ruler n’ebirala bingin’ekigendererwa ky’okusobozesa abayizi okusoma obulungi.









