Musasi waffe

Akakiiko akassibwawo okunoonyereza ku biyiiye by’Obwakabaka kamalirizza omulimu ogwakakwasibwa.
Alipoota yako olwaleero kagikwasizza Ssaabawolereza w’Obwakabaka Oweek. Christopher Bwanika.
Akakiiko akabadde kakulirwa munnamateeka Mathias Ssekatawa, kasabye ebiyiiye bissibweko obwanannyini Obwakabaka busobole okubiganyulwamu.
“Obuvunaanyizibwa obwatukwasibwa tubumalirizza netufumya alipoota ekwata ku by’obuyiiye [Intellectual property.] Alipoota erimu ebintu bingi akakiiko byekazudde ku ngeriki Obwakabaka gy’ebuyinza okusalamu amagezi okukuuma ebintu ebiyiiye mu Buganda,” Ssekatawa bweyategeezezza.
Ono yagasseeko nti baagala okukuuma ebintu ebimanyiddwa mu Buganda era n’okusala amagezi okulaba ng’Obwkabaka bufuna ejjamba okuva mu bintu ebyogeddwako mu alipoota.
Kululwe, Oweek. Bwanika yeebazizza nnyo Akakiiko kano akaalondebwa eyali Ssaabawolereza Oweek. David Mpanga, olw’amaanyi n’obukugu bwebakozesezza okulaba nga bakola ebbago erikwata ku biyiiye, engero, emiziro, amannya, n’ebyobuwangwa bya Buganda.
“Tewabaddewo nteekateeka eteeka ebintu bino mu mateeka okulaba nga bannannyinibyo babikuuma bulungi nnyo. Tulabye ebiseera bingi ng’ebyobuggaga bino bikozesebwa mu ngeri etali ntuufu. Twagala okubiteekateeka obulungi tuganyulwamu,”Bwanika bweyagambye.
Yagasseeko nti baagala okulaba nga bateeka mu nkola amagezi gonna agabaweereddwa n’okulaba nti byonna ebinonyerezeddwako Buganda gyebasuubira okudda ku ntikko ebikuuma ng’ebyobugagga byayo n’ebiwandiisa mu gavumenti eyawakati.