Bya Musasi waffe
Alipoota eyafulumiziddwa ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, ekya Criminal Investigations Directorate-CID, kiwadde ekitongole ky’amakomera kya Uganda Prisons Service amagezi, okuleeta abajaasi be babeera bakuuma amakomera okutangira ekyali e Moroto okuddamu okubaawo.

Kino kiddiridde okutoloka kw’abasibe 223 okuva mu kkomera lya gavumenti ery’e Moroto era nga baakuulita n’emmundu eziwera 15.
Eyakuliddemu okunoonyereza kuno era nga y’akulira okunoonyereza mu CID, Francis Olugu, eraze nti waliwo obwetaavu bunene amakomera gonna amanene mu ggwanga okukuumibwa amagye mu kifo kya abakuumi b’amakomera.
“Waliwo obwetaavu bw’okuleeta abajaasi bakuume amakomera, kiyambe okuziyiza embeera ng’eyaliwo e Moroto. Era n’abakuumi b’amakomera beetaaga okuddamu okutendekebwa oluvannyuma lw’ekiseera,” Alipoota bw’etegeezezza.
Alipoota ennyonnyola nti kyabulabe okuleka amakomera agakuumirwamu abazzi b’emisango eminene, okubeera nga gakuumibwa abakuumi b’amakomera ate nga batono nnyo bw’ogeraageranya n’abasibe abagalimu.
Mu kkomera ly’e Moroto mwalimu abasibe abali ku misango eminene 684 nga bano baali bakuumibwa abakuumi b’amakomera abatali bakugu nnyo kiri awo.
Alipoota eno eyagala amakomera amanene gonna naddala agakuuma ababbisa emmundu, abakozesa emmundu okulumya abalala wamu nabo abaatoloka mu magye n’oluvannyuma nebakwatibwa zegaba gasinga okuteekebwako obukuumi obwamanyi.
Abakoze alipoota baagala amakomera gateekebwemu bambega basobole okumanya abasibe kye bategeka okukola.
Alipoota eyagala bateeke kkamera mu makomera munda kiyambe okulondoola entambula y’abasibe nokumanya bye boogera n’abantu ababakyalira.
Alipoota ya Olugu era eyagala omuwendo gw’abakuumi abaweebwa ekkomera gutuukane n’abasibe kubanga e Moroto abakuumi bali 48 bokka.
Omwogezi w’ekitongole ky’amakomera, Frank Baine bw’abuuziddwa ku alipoota eno, ategeezezza nti tannagirabako nga noolwekyo tasobola kwogera ku kyatannalaba.
Bino we bijjidde ng’abakuumi b’amakomera abawera bataano baamaze dda okutwalibwa mu kkooti wamu n’okubakuba mu kakiiko k’amakomera olw’obulagajjavu bwe baakola, abasibe 223 nebabatolokako.
Bano kuliko; Aruho, eyali akulira awatuukirwa Fred Mugisha, Joseph Anguadia, Warder Atunu ne Geoffrey Owori.
Alipoota ya Olugu erumiriza nti okutoloka kw’abasibe e Moroto kwali kuteekeddwateekeddwa bulungi era ng’abamu ku bakuumi b’ekkomera lino olukwe baali balumanyiko.









