Bya Ssemakula John
Kyaddondo
Buli lukya abeegwanyiza entebe ya Kyaddondo East erimu Omubaka Robert Kyagulanyi beeyongera obudde nga mu bano muli abajaasi, bannamateeka n’abantu abalala ng’olwaleero we buzibidde ng’abeewandiisizza baweze 15.
Kino kiddiridde Omubaka Robert Kyagulanyi okulaga nti agenda kuvuganya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku ntebe ennene ey’obwapulezidenti.
Mu baagala okusikira Bobi Wine mulimu munnamagye eyawummula era eyali Omubaka wa Kyotera mu Palamenti era munnakibiina ki NRM, Pius Mujuzi ng’ono agenda kuvuganya owa NUP, Nkunyingi Muwada ne Munna DP James Serebe.
Munnakibiina kya FDC, Apollo Kantinti y’omu ku bamaze edda okwewandiis era nga yatandikiddewo okunoonya akalulu, n’abalala.
Mujuzi yali amaze ebisanja bibiri ng’akiikirira Kyotera era nga yawangulwa Haruna Kasolo kati Minisita mu kalulu ka 2011.
Kati Mujuzi abulukikidde Kyaddondo East era nga yalina kkaadi ya NRM oluvannyuma lw’okuwangula Sitenda Ssebalu era ng’olwamaze okwewandiisa n’ategeeza nti obuwanguzi abamaze era ng’agenda kuyamba okukyusa ekifo kino ekimaze emyaka egisoba mu 15 nga kirekeddwa emabega.
Ono asabye banne bwe bayingidde olwokaano okwewala okumusiiga enziro naye balage abantu bye bagenda okubakolera olwo bo basalewo.