
Bya Ssemakula John
Tirinyi – Mbale
Akabenje akalala kaguddu ku luguudo lwa Mbale –Tirinyi nekatta abantu abawera 6 ate abawerako nebagendera ku bisago ebyamaanyi.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Faridah Nampiima agamba nti akabenje kano kabaddemu emmotoka 3 okwabadde Toyota Hiace abasinga gyebayita Drone nnamba UBJ 676W , endala takisi nnamba UBH 437K ne Toyota Raum nnamba 995A happened.
Nampiima agamba nti akabenje kano kagudde mu kafo akamanyiddwa nga Mailo Tano ku luguudo lwa Mbale-Tirinyi ku ssaawa 12 ez’okumakya.
“ Abantu 6 bebakakasiddwa nga bano kuliko; Mulabi David, Namarome Fatima, Nambafu kurusum, Kafero isaka, n’omusajja omulala atanategeerekeka linnya ,” Nampiima bw’ annyonnyodde.
Nampiima agamba nti waliwo ategeerekese nga Saida Nandigobe nga ono afunye ebisago ebyamanyi awamu n’abalala babiri atatategeerekese mannya.
Ono annyonnyodde nti akabenje kavudde ku mugoba wa takisi UBJ 676W abadde avuga endiima era akakasizza nga abagoba ba takisi zino zombi bwebadduse nga kati banoonyezebwa.
Nampiima asinzidde wano nalabula abo bonna abakozesa enguudo okukomya okuvugisa ekimama kuba obubenje obusinga buvudde ku nsobi ezikolebwa abagoba ate nga zisobola okwewalika
.









