Bya Ssemakula John
Kampala
Bannayuganda musanvu balondeddwa okulamula emipiira gya AFCON Qualifiers wakati wa 9 ne 17 Novemba era ng’amawanga agabbinkana galina okuzannya emipiira ebiri. Nga bw’eri enkola, abalina okulamula ttiimu zino baasooka kulangirirwa nga ttiimu zino tezinnakwatagana.
Abalondeddwa kuliko; Mike Letti, Dixson Okello, Humphrey Mandu, Chelanget Ali Sabila, Dick Okello, Isa Masembe ne William Oloya.
Letti agenda kubeera Kamisona w’omupiira wakati wa Egypt ne Togo nga 14 Novemba.
Okello yalondeddwa okukulira eby’okwerinda mu mupiira gwa Ethiopia ne Niger ate nga Mandu y’ajja okulira eby’okwerinda nga Ghana egenda mu kibuga Sundan nga Novemba 17.
Abalala kuliko; Sabila, Dick, Magembe ne Oloya nga bano be baddifiri abagenda okulamula omupiira wakati wa Lesotho ne Benin.
Mu mpaka zino, Uganda egenda kuttunka ne South Sudan e Kampala nga 9 Novemba ate oluvannyuma baddemu okubbinkana nga 17 Novemba mu kibuga Nairobi ekya Kenya.