Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Bulange
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka mu Buganda Omutaka Augustine Kizito Mutumba akubirizza Ebika okukulaakulanya obutaka bwabyo bituukaane n’omutindo okusobola okukuuma n’okugyayo ekitiibwa ky’ebika nga abaabitandikawo bwe bayagala bibeere.

Okwogera bino Omutaka Namwama abadde ku Bulange e Mmengo mu lukiiko lw’Abataka lwe baaniririzaamu Katikkiro w’Ekika ky’Endiga omuggya Christopher Kalyesubula Kadumya Kiguli eyegasse ku lukiiko luno okuteeseza ebika.
Namwama asiimye Ekika ky’Endiga okukwata omumuli mu kuzzaawo ekitiibwa ky’Ebika bwe baasalawo okuzimba ekaddiyizo lya Kibuuka Omumbaale ku butaka e Mbaale gye basibuka era akubirizza ebika ebirala okulabira ku b’Endiga nabo bakulaakulanye obutaka bwabwe.
Mu ngeri y’emu, akubirizza abantu ba Buganda obutatya kwogera lulimi lwabwe baluyigirize n’abaana ng’annyonnyola nti mu lulimi mwe bayita okumanya ennono n’obuwangwa bwabwe.
Muzukkulu wa Lwomwa ayanjuddwa eri Olukiiko lw’Abataka Ab’Obusolya okubeera Katikkiro w’ekika omuggya ye Christopher Kalyesuubula. Omutaka w’Ekika ky’Endiga Lwomwa Eria Buzaabo yayanjulidde olukiiko Katikkiro omuggya n’ebimukwatako n’asaba Olukiiko lw’Abataka lumukkirize okulwegattako, era kino kikkiriziddwa.

Kalyesubula awererekeddwako abakulembeze b’Olukiiko lw’Ekika ky’Endiga, bajjajja Abaamasiga wamu n’abooluganda lwe era yeyamye okuweereza ekika n’Olukiiko lw’Abataka mu bwesimbu nga tatiiriridde Ssaabataka









