• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ab’ebyokwerinda e Bundibugyo bagobye abawagizi ba Kyagulanyi awalina okuba olukungaana

Gambuuze by Gambuuze
November 24, 2020
in Amawulire
0 0
0
Ab’ebyokwerinda e Bundibugyo bagobye abawagizi ba Kyagulanyi awalina okuba olukungaana
0
SHARES
19
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya John Ssemakula

Bundibugyo

Ab’ebyokwerinda mu disitulikiti ye Bundibugyo bagaanye abawagizi ba Robert kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okutuuka mukifo awalina okubeera olukungaana.

Kyagulanyi nga atalaaga ebimu ku bitundu bya Tooro

Kyagulanyi abadde asuubirwa okubeera mu kifo kino olunaku lwa leero ku Lwokubiri era olukungaana lulina kubeera ku kisaawe kye Kirumya.

Omu ku bawagizi bano Vincent Baluku  ategeezezza nti poliisi n’amajje  basudde emisanvu mu buli luguudo olutuuka ku kifo kino walina okuba olukungaana.

Baluku annyonnyodde nti ab’ebyokwerinda babategeezezza nti bafunye ebiragiro okuva ewa RDC okulondobamu abalina okuyingira mu kifo kino.

“Batandise okukozesa obukodyo bw’okutulwisa basobole okuyisa obudde, obwedda abantu bajja nebabazaayo, akakubo akajja wano bakasazeeko nakawali bakasazeeko,” Baluku bw’annyonnyodde.

Omuwagizi omulala Amis Haruna agambye nti eby’okwerinda bino bibadde abadde yaludde okubiraba neyewuunya lwaki poliisi eyungudde abapoliisi bano bonna.

Omulala Tuhairwe Asiimwe ayagala ab’ebyokwerinda babakomeko era baggule amakubo agalina okutuuka ku kisaawe kino.

Akulira NUP mu Bundibugyo, Franklin Muhindo agambye nti batudde n’abatwala eby’okwerinda mu disitulikiti eno nebakkanya naye yeewunyizza lwaki basazeewo okulemesa abawagizi babwe kati.

Ono agambye  nti bakugenda mu kifo ekirala kyebalaba nti abantu baabwe basobola okutuukawo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist