Bya Ssemakula John
Kampala
Omwogezi wa Uganda People’s Defense Forces (UPDF), Brig. Gen Flavia Byekwaso, akkirizza nga bwe balina eyali Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Moses Nkonge Kibalama nga kino bakikoze kukuuma bulamu bwe kubanga abaddeko abantu abamutiisatiisa ekitadde obulamu bwe mu matigga.
Ekyama kino Byekwaso akibikkulidde bannamawulire olwaleero bw’abadde ayogerako ne bannamawulire ku Uganda Media Centre wano mu Kampala.
Byekwaso yategeezezza nti, kituufu ab’ebitongole be by’okwerinda be balina Kibalama era nga kino kyakoleddwa ku lw’obulungi bwe naye n’agaana okwogera ekitongole kyennyini ekirina Kibalama era n’akakasa nti eggye lya UPDF ensonga eno terigiriimu.
“ Eggye lya UPDF si lye lirina Kibalama era telirina kye lyamukoze nga bwebiri mu mawulire naye abajaasi abaalabiddwako mu maka ga Kibalama, baliyo kukuuma makaage naye kye tulina okumanya nti ebitongole by’ebyokwerinda bingi era nga UPDF ekolagana nabyo nga bwemukimanyi.” Byekwaso bweyattaanyizza.
Byekwaso yagasseeko nti, bafunye okutemezebwako nga bwe waliwo abantu abaagala okulumba Kibalama wamu n’amakaage bamutuuseeko obulabe.
Kino kiddiridde amawulire okufuluma nga galaga abajaasi nga beetolodde amaka ga Kibalama agasangibwa e Nansana mu Wakiso era nti bano baamututte mu kifo ekitamanyiddwa era nga n’essimu ye emanyiddwa yaggyiddwako.
Byekwaso yagaanye okulambika ekitongole kyennyini ekirina Kibalama wabula n’ategeeza nti bamuwadde obukuumi obumala era nga akuumibwa butiribiri.
Ono yannyonnyodde nti, omuntu okuweebwa obukuumi kisinziira ku kutiisibwatiisbwa okubeera kuliwo era nga bwebatunuddemu nebalaba nga kyetaagisa okumuggya mu makaage babeeko webamukuumira era nga kino kye kigenda mu maaso.
Bino bizzeewo oluvannyuma lw’akatambi ka Kibalama akabadde kanenya Bobi Wine Pulezidenti wa NUP mu kiseera kino olw’okulemwa okukuuma ebisuuubizo bye eri Kibalama omwali okumuwa ensimbi obukadde 5 eza ddoola era nga akkiriza ng’abamu ku bammemba b’ekibiina bwe yabaleka ebbali ng’akukyusa obukulembeze n’erinnya ly’ekibiina.
“Omuntu bw’akuwa ddiiru ennungi ey’obukadde bwa ddoola 5, buli omu aba alina okugitwala, eyo y’engeri gye twagwa mu katego. Singa tetwaleeta bantu ba People Power mu kibiina kyandibadde kikyatambula bulungi.” Kibalama bwe yategeezezza mu Katambi.
Bino Kyagulanyi abiwakanyizza n’ategeeza bannamawulire ku kkooti bw’abadde agenze okulira omusango abamu ku baali bammemba mwe bawakkanyiza okukimukwasa, yategeezezza nti tasuubizangako Kibalama kumuwa wadde ekikumi.
Kyagulanyi yannyonnyodde nga buno bwe buli obuzannyo bwa Museveni era ng’agezaako okumulemesa okwesimbawo ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2021.