Bya Yusuf Muwuluzi
Masaka – Buddu
Essaza lya Ssaabasajja Kabaka erya Buddu wamu n’ebitundu ebirilaanyewo bali mukiyongobero nga bagenda mu maaso okukungubagira omusumba omuwumuzze Rt. Rv. Dr. Bishop John Baptist Kaggwa eyafudde ku Lwokuna.
“Bishop Kaggwa ng’ essaza lye Masaka ate n’eklezia katolika mu Uganda okutwaliza awamu tugenda kumusubwa nnyo olw’ensonga nti abadde atakabanira nnyo obumu mubantu bonna nga tasosodde ggwanga nga tasosodde ddiini” bwatyo Fr. Ronald Mayanja ow’amawulire mu sssazza lye Masaka bwe yagambye.
Fr. Mayinja yatendereza okwagala Bisoopu Kaggwa bwabadde alina eri abaana abato kuba abadde abasembeza era nga olumu asamba nabo omupiira.
Omusumba Kaggwa abadde yakamala okujaguza emyaka 25 egy’obusumba era nga omwaka ogujja abadde agenda kujaguza emyaka 50 mu buweereza bw ‘obusaseredooti.
Okusinziira ku Fr. Mayinja, Omusumba Kaggwa yakola nnyo okuddaabiriza lutikko era nga aguddewo ebigo eby’enjawulo nga alwana okulaba nti abakulisitu bafuna emmisa yonna gyebali.
Ono yagambye nti Omusumba Serverus Jjumba afiiriddwa nnyo kuba kano ke kaseera wabadde asinga obwetaagira omusumba Kaggwa asobole okumulung’amya olw’ensonga nti yeyamuddira mubigere.
Era ategezezza nti enteekateeka z’okuziika zijja kufuluma oluvanyuma lw’olukiiko lw’abepiskoopi okutuula e Nsambya.
Bbo bannamasaka boogedde ku mugenzi nga omuntu abadde ayimirira ku mazima era atalya bigambo bye era nga singa wabaawo ekitagenda bulungi nga abakulu abagambako.
Kato Ronald yannyonnyodde nti Bisoopu Kaggwa yabawa ente z’amata ez’olulyo nga ayitira mukitongole ky’ekrezia ekya Karitas Maddo wabula nga abaganyulwamu tebawulibwa mu diini n’amawaanga.
“Omusumba Kaggwa tuviriddwako omuntu abadde atuwumbawumba, atukumaakuma, atubuulirira era atugambako”. Bwatyo Mmeeya w’ekibuga kya Masaka omulonde, Florence Namayanja bwayogedde kumugenzi.
Ate ye omubaka Mary Babirye Kabanda yamwogeddeko nga abadde amusajja omwetowaze, atasosola mubantu omuli abagagga n’abaavu era nga buli muntu amuyita kumukolo ajja.
Ebyafaayo by’omusumba John Baptist Kaggwa
Bishop Kaggwa yazaalibwa e Bulenga mu Wakiso mu mwaka 1943.
Yafuna obusaseredooti mu 1972, naweebwa obusumba nga 19/12/1994 ate natuuzibwa nga omwepiskopi nga 24/6/1995.
10//10/1998 lweyakwasibwa okusumba essaza lye Masaka.
Kaggwa yasomera e Lubaga Boys 1952 okutuuka 1957 ate 1958 nayingira Kisubi Seminary. Bweyaveeyo yeegatta ku Katigondo Major Seminary ate bweyava eyo naweerezebwa e Roma okwongera okusoma.
Mu 1970 yaweebwa obudyankoni e Roma nga wa myaka 28 era eyo nafunayo Ddiguli ezawererako ddala.