Bya Miiro Shafik
Gayaza – Kyaddondo
Abaasomerako ku Gayaza High School batongozza okusonda ensimbi okuzimba n’okugaziya ekifo omusabirwa abayizi ku ssomero lino ekiyitibwa “Pillars of Grace”. Enteekateeka eno entongolezeddwa ku ssomero wennyini ewategekeddwa okusaba n’ekijjulo.

Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda The Most Rev. Samuel Stephen Kaziimba Mugalu y’akulembeddemu okusaba ku mukolo guno ategeezeza nti buli muntu lw’abeera n’okwolesebwa yetaaga abamuwagira mu kwolesebwa okwo okusobola okuggusa ekyo ky’aluubirira, ono bwatyo yebazizza abaasomerako e Gayaza olw’enteekateeka eno gye batandise okuzimba ennyumba ya Katonda.
Ssaabalabirizi agamba nti Gayaza High School efulumizza abantu abagundiivu bangi mu mirimu egy’egyanjwulo wabula bano nga okumanya kwabwe eri Katonda kuzimbiddwa mu kkanisa eyazimbibwa emyaka 60 egiyise. Ategeezezza nti omwana bw’asomesebwa naye n’atasigibwamu ddiini abeera tajjudde era mu bulamu bwe wabaawo ekibulamu, wano weyebalizza abavuddeyo okugatta ku mulimu guno okusobozesa abaana okuyiga eddiini.
Kaziimba agamba nti kirungi okuzimba ebintu ebiri ku mutindo gw’ensi yonna era abantu essomero lya Gayaza High School ligenda kweyongera emikisa olw’ekifo kino, Katonda bw’ababa akola emirimu gye akozesa bantu, era agamba bano Katonda bayitiddemu okuteekawo ekifo kino, kiganyule abaana baabwe, ono akoowodde bannagayaza GOGA okuwaayo ensimbi okuteekawo ekizimbe ekiggumivu ekitaabeeko muntu mulala akikyusa.

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa y’akuliddemu akanyomero k’okusonda ensimbi ku mukolo guno, ayogedde ku Gayaza High School nga essomero ery’ebyafaayo erimanyiddwa ennyo mu kugunjula abaana abawala ab’omuzinzi era ab’omulamwa ekirifudde ery’enkizo mu nkulaakulana ya Buganda, Uganda n’Ensi yonna okutwaliza awamu.
Owek. Nsibirwa ategeezezza nti yatuukirirwa abaasomerako mu Gayaza High School ne bamutegezezza nti baagala okugaziya Chapel omusabirwa abaana ku ssomero lino, okuva kw’eyo eyazimbibwa emyaka 60 egiyise ng’etuuza abantu 400 nga kati baagala okuteekawo ekifo ekituuza abantu nga 2,000. Annyonyodde nti Gayaza High school olw’okuba limanyiddwa nti ssomero liri ku musingi gwa kkanisa, okusinza Katonda kikulu nnyo eri abaana abasomera wano. Kino kye yasikiriza abaasomerako mu ssomero lino okunonya ababakwatizaako okufuna obuwumbi musanvu (7,000,000,000) okuteekawo ekizimbe ekigazi.
Owek. Nsibirwa yebazizza bonna abaakadduukirira omulimu guno era ategeezezza nti ensimbi ezaakafunibwa ziyingira mu kawumbi akamu n’obukadde nga bina (1.4B) eziriwo mu mpeke, eziri mu bisuubizo wamu n’abeeyamye ebintu ebikalu. Ono ayongedde okukunga abantu okuwagira omulimu guno gugguke.
Omukulu w’essomero lino Robinah Katongole Kizito ategeezeza nti chapel yazimbibwa butereevu ng’etunudde mu mulyango oguyingira essomero, agamba nti Chapel eno kabonero eri abantu bonna abagenda ku ssomero lino nti Katonda y’akulembera mu nsonga zonna, era ekifo kino kiyambye abaana abawala bangi okwongera okutegeera Katonda n’okumwekwata mu byonna bye bakola.
“Chapel eno ebaddemu okubatiza abantu, okuwangula emyoyo, embaga, okusaba, okwegayirira n’enteekateeka endala nnyingi ezikunganya abantu awamu, kyokka mu kiseera kino ekifo kino tekikyamala bayizi na bantu bakungaanira mu kifo kino, nneebaza GOGA olw’okuvaayo mu kiseera kino okulaba nti Chapel eno egaziyizibwa” Muky. Kizito.
Muky. Kizito yebazizza aba GOGA okuba nti guno ssi gwe mulundi gwe basoose okuvaayo ku nteekateeka ezikulaakulanya essomero lyabwe, nga n’ekizimbe okuli woofiisi enkulu ez’essomero be batandika enteekateeka okukyusa endabika yaakyo oluvannyuma bboodi n’ebeegattako okuggusa omulimu guno. Ono yebazizza bonna abavuddeyo okubakwasizaako okugaziya Chapel eno.
Ssentebe wa bboodi ekulembera essomero lino, Muky. Rosette Lubwama Kebba agamba nti essomero lino lyatandika n’abaana batono ddala bw’ogerageranya nabo abaliwo kati, kyokka kuva dda, Chapel ebaddewo ewaniridde abaana bangi okuyiga Katonda, okukola emikwano n’ebirala, kyokka basoomoozeddwa okuba nti ekifo kibadde tekikyamala.

Rosette Lubwama akunze abantu okweggatta ku ba GOGA n’essomero okutwaliza awamu okulaba nti omulimu guno ogwetaagisa ensimbi obuwumbi 7 n’okusoba gumalirizibwa. Ono yebazizza abaasomerako ku ssomero lino olw’omutima ogwagala essomero lyabwe bulijjo ne balisuuliranga omwoyo okulaba nti lisituka. Ono yebazizza Owek. Robert Waggwa Nsibirwa olw’obuwagizi bw’awa essomero lya Gayaza mu nsonga nnyingi ddala.
Christine Kasule Mulimba, ono ye Ssentebe wa Gayaza Old Girls Association – GOGA agamba nti emyaka 120 egiyise Gayaza High School eyimiriddewo nga essomero eriteeseteese abaana abawala okubafuula abantu ab’omugaso mu ggwanga, kyokka nga emu ku mpagi abaana abayise mu ssomero kwe beesigama y’ekkanisa mwe basibira n’okunyweza enkolagana yaabwe eri Katonda. Akunze abantu okubeegattako mu kuggusa enteekateeka eno gye batandiseeko ng’agamba nti yenna anateeka ettofaali ku mulimu guno ajja kuba azimbye omukululo ogw’amaanyi ddala.
Mulimba agamba nti okugaziya ekifo abayizi we basabira kirabo kye bawa abayizi abasomera mu ssomero lino nga nabo basiima engeri ennungi gye bakwatibwako essomero lino ne bafuuka abantu ab’omugaso mu ggwanga. Ono asabye obukulembeze bw’essomero n’abantu bonna okusigala nga bangunjula bulungi omwana omuwala naye aleme kunyoomebwa wabula asituke era akole eby’amaanyi.
Omukolo guno gwetabiddwako Bannaddiini okuva mu kkanisa y’Abakulisitaayo, Abayizi abaasomerako ku ssomero lino, abazaddeabalina abaana ku ssomero lino oba nabo abasomesezaayo abaana, abawasa absomerako n’emikwano gy’essomero okuli n’abasomero abalala









