• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ab’e Bulaaya besunga kudduka gy’Amazaalibwa ga Kabaka

Gambuuze by Gambuuze
March 17, 2026
in Amawulire
0 0
0
Ab’e Bulaaya besunga kudduka gy’Amazaalibwa ga Kabaka
0
SHARES
15
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo – Kyaddondo

Abantu ba Kabaka ab’e Ssaza Mid-West America baguze emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka.

Nga tusemberera olunaku lw’okuddukirako amazaalibwa ga Beene ag’emyaka 71 mu Lubiri e Mmengo, abantu ba Kabaka okuva mu Ssaza Mid-West America bamaze okwefunira obujoozi mwe bannaddukira okusobola okwetegeka nga bukyali baleme kufuna kusumbuyizibwa kwonna nga olunaku mulindwa olwa 12 Kafuumuulampawu lutuuse.

Emijoozi gino gikwasiddwa omumyuka w’omwami wa Kabaka mu Ssaza Mid-west America, Ssaalongo Kiggundu Robert, annyonnyodde nti okudduka emisinde gy’okujaguza amazaalibwa ga Kabaka baagifuula nkola era guno gugenda kubeera mulundi gwa kusatu nga baddukira mu bitundu eby’enjawulo eyo gye bawangaalira era n’omuwendo gw’obujoozi gweyongeddeko okuva ku 70 okutuuka ku 200 obuguliddwa omwaka guno.

Bw’abadde akwasa Ssaalongo. Kiggundu emijoozi gino ku Bulange e Mmengo, Minisita wa gavumenti ez’Ebitundu okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, asanyukidde nnyo abantu b’omu Mid-West America okunyikira okwetaba mu misinde gy’amazaalibwa ga Beene nti enkola eno eyongera okuggumiza ssemasonga ettaano.

“Okudduka emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka kutambulira mu Ssemasonga ey’okuna nga abasajja tukubirizibwa okuba abasaale mu kutaasa omwana omuwala akawuka akaleeta mukenenya kale kitwoleka nti tutambulira wamu wadde muli bunaayira naye tuli ku lujjegere lwe lumu nga twekutte ku Ssabasajja Kabaka” minisita Kawuki bw’annyonnyodde.

Minisita Kawuki ategeezezza nti okunona emijoozi kuno kukaatiriza omulimu gwa Abaganda okuzza Buganda ku ntikko bw’atyo n’asaba buli mwami wa Kabaka eyo gyaali okubaako ky’akola ekiraga nti atambula n’Obwakabaka okufuba okubukulaakulanya.

Ku lw’omulamwa gw’omwaka guno, Minisita Kawuki asabye abantu ba Kabaka e bweru wa Buganda okwongera okusaasaanya amawulire g’okukomya okusaasaana kw’akawuka akaleeta mukenenya mu bantu ba Beene nti siriimu tataliza muntu yenna.

Abantu ba Mid-West America bakuddukira mu ggombolola ez’enjawulo okuli; Michigan, Minnesota, Indiana, Wisconsin, Iowa, Illinois, Chicago, n’ebirala, era ebifo byawedde okuteekebwateekebwa.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist