Bya Ssemakula John
Kampala
Abawagizi beeyesimbyewo ku bwapulezidenti ku kkaadi y’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) , beekalakaasizza mu bitundu bya Kampala ne Masaka nga bawakanya eky’okumukwata bw’abadde anoonya akalulu e Luuka mu bitundu by’e Busoga.
Amawulire g’okukwatibwa kwa Kyagulanyi olwategerekese, abantu ab’enjawulo okuli; ewa Kisekka, Kibuye, Nasser Road, Masanafu, Kireka, Bweyogerere n’awalala ne batandika okwekalakaasa.
Bano bazibye amakubo wamu n’okukuma omuliro mu nguudo ez’enjawulo era gye biggweeredde ng’abakulira eby’okwerinda bayimbudde abamagye ne poliisi okuggya batereeze embeera.
Okusinziira ku Poliisi Kyagulanyi akwatiddwa olw’okujeemera ebiragiro ebitangira Ssennyiga Corona kuba abadde akung’aanyizza abantu abasoba mu 200 abakkiribwa mu mateeka.
Kyagulanyi atwaliddwa e Nalufenya mu Jinja gy’ali mu kukuumirwa wabula nga poliisi ekyagenda mu maaso okukozesa ttiyaggaasi n’amasasi okugumbulula abawagizi be mu bibuga ebyenjawulo.