• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Abavubuka Mulwanirire Omugabo gwa Buganda, Kyokka Mukulembeze Bumanyi

Gambuuze by Gambuuze
August 22, 2025
in Amawulire
0 0
0
Abavubuka Mulwanirire Omugabo gwa Buganda, Kyokka Mukulembeze Bumanyi
0
SHARES
509
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Mmengo – Kyaddondo

Olusirika lw’abakulembeze b’abavubuka mu Buganda olututte ennaku 3 nga luyindira ku kitebe ky’ekitongole ky’ebyobulambuzi mu Buganda lukomekkerezeddwa era abatendekeddwa ne baweebwa amabaluwa.

Ku lwa Katikkiro, Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Hajj Ahmed Lwasa yagaddewo olusirika luno n’akuutira abavubuka okweyambisa amagezi ge bafunye mu misomo egibaweereddwa balwanirire omugabo gwa Buganda n’empeereza ez’omutindo.

“Abavubuka musome nnyo nnyo nnyo, ekirungi nti tekinologiya waali mumweyambise munonyereze, amagezi ge munaafuna ge gajja okuyamba okutuukiriza ebibasuubirwamu, ne bwekuba kuvuganya mu byobufuzi obumanyi bujja kubayamba okuyimirira ku nsonga awatali kubuzaabuzibwa” Owek. Lwasa

Ku lw’Obwakabaka bwa Buganda Owek. Lwasa yebazizza Bannamikago bonna abavuddeyo okubangula abavubuka mu Buganda ku ngeri gye basobola okubanja n’okulwanirira obuweereza obw’omutindo mu bitundu byabwe. Ono era yeyamye nti Obwakabaka bujja kuwagira abavubuka okulaba nti bateeka mu nkola bye babanguseemu.

Ye Einar Fogh munnansi wa Denmark ng’akola n’ekitongole ki GIZ, ku lwa Bannamikago bonna abaakwataganye ku , musomo guno ategeezeza nti balina essuubi lingi mu bavubuka ba Buganda naddala kunanga balina obukulembeze obulambikiddwa obulungi okuviira ddala mu byalo ky’agambye nti kijja kwanguya okutuusa amagezi ku bantu bonna okusitukiramu okubanja obuweereza obw’obwerufu. Bwatyo asabye abavubuka abatendekeddwa okweyambisa okumanya kwe bafunye obulungi bayambeko ebitongole bino okutuukiriza emurimu gyabyo ate nabo okugatta ku nkulaakulana y’Eggwanga lyabwe.

Minisita w’Abavubuka mu Buganda Owek. Robert Serwanga Ssaalongo ategeezezza nti abakulembeze b’abavubuka mu Buganda abeetabye mu lusirika luno bamaze okutikkibwa amagezi ge bagenda okukozesa okulaba nga bagoberera emirimu mu bitundu byabwe gituukirizibwe bulungi, asabye abavubuka okukola ekyo ekibasuubirwamu okuzimba Buganda yaabwe. Abakuutidde okubanja obuweereza n’okulonkoma abo abakola ebitta ekifaananyi ky’obuweereza bwa Gavumenti nga bwe buteekwa okubeera.

Ye Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda Munnamateeka Derrick Kavuma, “Ekirwadde ekisinga okubeera eky’amaanyi ekisanyizaawo abantu n’abakulembeze bwe butamanya, omukulembeze atalina kumanya, talina ky’ayinza kugamba bantu be” Derrick Kavuma mu bigambo bye era yebazizza nnyo Obwakabaka olw’enteekateeka gy’agambye nti esitudde entegeera y’abavubuka ku bintu bingi bye babadde tebamanyi.

Enkolagana wakati w’Obwakabaka ne bannamikago okuli; eky’Abagirimaani ki GIZ, woofiisi ya Kalondoozi wa Gavumenti, woofiisi ya Ssaabalirizi w’ebitabo bya Gavumenti n’ebirala yakusooka okuvaamu okutendeka kw’abavubuka 50 era 25 be basoose okuva nga 20 okutuuka nga 22 ate abalala bajja kutendekwa wakati wa 27 ne 29 omwezi guno. Abavubuka abatendekeddwa baweereddwa empapula ezikakasa okutendekebwa kwabwe

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.