Bya Hashim Ssembusi
Buweekula
Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga akubirizza abavubuka okujjumbira obulimi n’okwetanira ennima ey’omulembe bwe baba nga baagala okuganyulwa mu bye bakola.

Obubaka buno Minisita Serwanga abuweeredde Buweekula bw’abadde alambula abavubuka n’emirimu gye bakola egikolebwa abavubuka era ng’ono okulambula akutandikidde mu muluka ggwa Ssaabaddu Kagoma mu ggombolola Mutuba 1 Kitenga mu nnimiro y’omuvubuka Jaggwe Peter ow’emyaka 27 nga mulimi wa Mmwanyi azirimira ku bugazi bwa yiika 6 kyokka nga 2 ku zzo zamuweebwa Kitaawe.
Owek. Serwanga ono amukubirizza okwekwata ennima ey’omulembe ng’afaayo okulabirira ennyo omusiri gw’emmwanyi n’okumanya ebibalo by’emiti gy’emmwanyi emituufu egirina okubeera mu yiika. Ono amusabye okugana obuwanguzi bwe ne bavubuka banne abayigirize era akkirize okubeera ekyokulabirako ekirungi asobole okukulaakulana n’abalala.
Minisita Serwanga wano we yebalizza Taata wa Jaggwe Peter olw’okumuwa ettaka yiika omukaaga kwe yaggya entandikwa emusobozeseza n’okugaziwa okutuuka waali obudde buno. Bw’atyo akubirizza abazadde bulijjo okwagiranga abaana baabwe, okubalaga ekkubo n’okubalungamya mu mirimu okusinga okulowooza nti abaana bajja kwekolera ebyabwe.

Eno wasangiddwayo abavubuka abegattira mu kibiina ki “Balitulabirako General Group” bano nabo balimi ba mmwanyi, basanyukidde nnyo Minisita okubalambula okubawabula n’okubazzaamu amaanyi mu ntambuza yaabwe ey’emirimu era bamubuulidde nti okuva kaweefube wa mmwanyi Terimba lweyeteekebwako amaanyi, baasitukiramu era mu kiseera kino balina enjawulo nnene mu bye bakola.
Minisita Serwanga oluvudde mu nnimiro ya Jaggwe Peter agenze ewa Steven Nkudiye mu muluka gwa Mumyuka Kalonga nga ono mulunzi ate era mulimi we mmwanyi, alambudde n’omuvubuka Mumpe Mathias mu muluka gw’e Bugonzi nga naye mulimi wa mmwanyi era omulunzi. Okulambula olunaku olusoose Minisita akuwunzikidde mu ggombolola Ssaabagabo Kasambya ewa Kasole Elijah Nyinzima ng’ono akola gwa kwokya byuma (kukola nziji, madirisa n’ebirala).
Mu bubaka bwe eri abavubuka naddala abali mu byalo, Minisita Serwanga abakubirizza obutadduka mu byalo mbu beyunira bibuga, wabula bakolere mu byalo byabwe basobole okubikulakulanya, kubanga n’ebibuga byasooka okulabika nga byalo okutuusa lwe byakulaakulanyizibwa.
Omwami wa Kabaka amulamulirako essaza Buweekula, Owek. Ssempijja Andrew Mukasa agambye nti nga ng’essaza balina enteekateeka engazi eri abavubuka okulaba nga basitulwa n’okuwagirwa mu mirimu gye bakola okweyimirizaawo n’okulaba nga babeera ku mwanjo nnyo mu ntambuza y’emirimu mu Ssaza.
Ssentebe w’Abavubuka mu Ssaza lino Buweekula, Nagawa Florence atubuulidde nti okukyala kwa minisita e Buweekula, kubazizzaamu amaanyi abavubuka era kigenda kubayamba nnyo okusitula omutindo gw’ebyo bye bakola okwebezaawo nga bakulembeza obukugu n’amagezi bye bafunye mu buwabuzi obubaweereddwa.

Minisita Serwanga wa kuwunzika obugenyi bwe mu Ssaza lino nga alayiza obukulembeze bw’abavubuka n’okuggulawo emizannyo gy’Eggombolola 2025 egivuganzibwamu eggombolola mu Masaza ga Buganda gonna, nga mu buli Ssaza, ekikopo kiweebwa erinnya ly’omwami w’Essaza.
Mu mbeera eno e Buweekula emizannyo gye gigenda okutongolezebwa Luweekula Cup etandika n’emipiira 2; Mumyuka Bagezza ezannya Ssaabagabo Kasambya ate Mutuba I Kitenga bazannya Musaale Kiyuuni.









