Bya Miiro Shafik
Mmengo Kyaddondo

Omulangira Wasajja asinzidde mu nsisinkano gy’abadde nayo n’abakulembze b’Abavubuka abanaatera okuwaayo obukulembeze n’asiima ebikolebwa abavubuka mu kukuza Buganda.
“Abavubuka ly’eggye lya Kabaka eritalina mmundu, Oyo yenna ayagala okulumba Kabaka aba alina okwaŋŋanga abavubuka” – Omulangira David Kintu Wasajja
Omulangira Wasajja yebazizza abakulembeze b’Abavubuka ku lukiiko olukulumberwa Mw. Ssejjengo n’abavubuka ba Buganda olw’omukwano n’obwagazi bye balaze Kabaka era ategeezezza nti Beene yenyumiriza nnyo mu bavubuka.

Omulangira Wasajja agamba nti abavubuka bayambye mu kyusa ebiruma abantu mu Uganda nga basanyukira wamu ne Buganda ku bibeera bituukiddwako era ne bayimirirawo eri abasoomozebwa wamu n’okutuusa eddoboozi ku biruma Buganda.
“Twebaza abavubuka, jjuuzi lwe waliwo okusosolebwa okwa Buganda bwe yali erekeddwa ebweru mu ‘budget’, ate nga Buganda bingi by’ebanja Gavumenti, ne basitula eddoboozi, tubeebaza olw’obuvumu obwo” Omulangira Wasajja.
Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda Mw. Baker Ssejjengo asinzidde mu nsisinkano eno n’asoma alipoota eri Omulangira Wasajja ng’omuyima w’Abavubuka mu Buganda era amwebazizza olw’okubaluŋŋamyanga mu nsonga ez’enjawulo.
“Mukama wange tukwebaza kyokka era tweyanza nnyo Ssaabasajja Kabaka okuba nti omulembe yagukwasa bavubuka ate n’abateerawo emikisa okufuna emirimu wamu n’okubakuza mu bintu eby’enkizo ekiraga nti omulembe yagubakwasa mu bikolwa.” Ssejjengo.

Ssejjengo mu bintu by’ayanjudde ebikoleddwa olukiiko lw’abadde akulembera ategeezezza nti baalemesa Gavumenti okuggyawo obwa nnannyini ku ttaka mu nkola eya mayiro, okufuna abavubuka abawangula ebifo eby’enkizo mu Gavumenti eyawakati, okutumbula ebyenjigiriza , ebyemizannyo n’ebirala.
Obukulembeze bwa Baker Ssejjengo n’Olukiiko lwe bumaze ebbanga lya myaka ena (4) n’okusoba nga luweereza abavubuka mu Buganda. Bano bateekateeka kuwaayo bukulembeze eri abakulembeze abalala.