Bya Ssemakula John
Bulange -Mmengo
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, ategeezezza nti abantu abamu balaba abavubuka ng’ekizibu ne beerabira nti be bannannyini si eno era baliko omugabo mu buli kimu ekikolebwa.
Owek. Waggwa bino abyogedde asisinkanye abakulembeze b’olukiiko olw’oku ntikko olwa bavubuka mu Buganda abamukyalidde mu woofiisi ye leero ku Lwokuna mu Bulange.
“Ffe abakulembeze ku mitendera gyonna tubalaba ng’ekizibu, gavumenti ebalaba ng’ekizibu, abantu gye bawangaalira abavubuka babalaba ng’ekizibu naye ate nga be bannannyini nsi eno.” Owek. Nsibirwa bw’annyonnyodde.
Ono agambye nti singa abavubuka babeera bateekeddwateekeddwa bulungi ne beeyuna enteekateeka nga ey’Emmwannyi Terimba, basobola okubeera ab’omugaso eri enkulaakulana y’ensi. “Buli lw’ovuga n’ogenda mu Buganda, emmwannyi ekomyewo ate ng’ekomyewo n’ettooke era ndi musanyufu nti abavubuka mwagala okwenyigira mu nteekateeka eno.” Owek. Waggwa bw’agasseeko.
Owek. Nsibirwa yeeyamye okunoonyeza abavubuka ba Buganda bannamikago mu bibiina ebyenjawulo okulaba nga bakyusa obulamu bwabwe wamu n’okwongera okugasa Obwakabaka bwa Buganda. Omuwanika abasabye okwettanira ebibiina nga Rotary n’ebibiina ebirala era bakulembeze eddiini mu buli kimu kye bakola okusobola okugenda mu maaso.
Abasibiridde entanda okunyweza bye bakola mu bukugu obw’enjawulo kuba omuntu bwe yeesiba ku kuweereza abantu kyonna awatali kukola kirala n’obuvunaanyizibwa bukaluba.
Ssentebe w’olukiiko luno, Omuk. Baker Ssejjengo, ategeezezza nti baayagadde okwanjulira Omuwanika enteekateeka ze balina ng’abavubuka era n’okulaba engeri gy’asobola okubayambamu okuganyulwa mu nteekateeka y’Emmwannyi Terimba.
Ssejjengo agambye nti Omuwanika asanyukidde enteekateeka zaabwe era n’abasuubizza okubayunga ku bannamikago abasobola okubayambako okutumbula embeera z’abavubuka mu Buganda ne Uganda.
Ono alaze nti beetegefu okuyambako okutumbula okulima emmwannyi nga baginoonyeza akatale wamu n’okulaba nti bataasa abavubuka ku muze gw’okutunda ettaka nga balikozesa okulima emmwannyi.