Bya Ssemakula John
Kampala
Omumyuka wa Ssaabapoliisi, Maj Gen. Paul Lokech, alabudde abategese okukola emivuyo n’okutabula eggwanga nti bajja kukyejjusa.
Kino kiddiridde amawulire agasaasaanye ku mutimbagano n’obutambi obulabula nti mu Ssabiiti ntono wakati wa Febraury 3 ne 7, 2021 nti eggwanga ligenda kusannyalala.
Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire ku Mmande wano mu Kampala, Amyuka Ssaabapoliisi ategeezezza nti enkwe zino poliisi ezimanyi era terina gw’egenda kutaliza.
“Tumanyi abantu abamu n’obubinja abatandise okuteeka okutya mu bannayuganda nga bayitira ku mutimbagano. Bino tetubitwala nga byakusaaga tutegese abagenda okwag’anga obuzibu buno singa babutandika,” Lokech bw’alabudde ku Mmande.
Okusinziira ku butambi buno, bannayuganda babasabye okusigala awaka wakati wa 3 ne 7 mu mwezi gwa February era batereke emmere eyinza okubayamba okumala akaseera.
Lokech agamba nti batandise okunoonyereza ku nsibuko y’obubaka buno.
“Abamu ku bantu bano bali wabweru wa Uganda era tukwataganye n’amawanga ago tulabe kye bayinza okubakolera. Abantu bano abalowooza nti basobola okutabangula Uganda bakimanye nti eno nsobi era bajja kukyejjusa.” Maj. Gen Lokech bw’agambye. Kuno si kutiisatiisa naye kulabula abaagala okutabangula emirembe. Tewali ggwanga gye basobola kwekweka, ab’ebyokwerinda beetegefu era kwebali ku nguudo.” Lokech bw’ategeezezza.
Ono agambye nti baakusigala nga bakuuma emirembe era nga bannayuganda tebalina kweraliikirira ku kintu kyonna. Ebigambo bya Lokech biggumizza ebya Pulezidenti Museveni mwe yalabulira omuntu yenna eyeetegese okutabangula emirembe gya bannayuganda, nti tebajja kubagamya.