Bya Musasi Waffe
Kampala
Eggye ly’eggwanga li ‘Uganda Peoples’ Defence Forces (UPDF)’ bali ku muyiggo gw’abasibe abasoba mu 50 abatolose mu balakisi ye Moroto gyebabadde bakuumirwa nebakuliita n’emmundu eziwera 36.

Bano batolose ku ssaawa Kumi ez’olweggulo era nga webuzibidde nga UPDF ereese ennyonyi okusobola okuziyiza abasibe bano okweyongerayo wadde nga wetukoledde eggulire lino babadde tebanakwatobwako.
Kigambibwa nti, bano olutolose baddukidde mu nsozi z’e Moroto era basembye okulabibwako nga bakyali mu ngoye zaabwe eza kyenvu eziweebwa abasibe.
Abatuuze mukitundu kino balumiriza nti, wabaddewo okuwanyisiganya amasasi wakati w’abasibe bano n’eggye lya UPDF.
“Amasasi ganyoose okuliraana oluggya lw’ekibiina kya mawanga amagatte e Moroto. Abasibe abasoba mu attaano badduse n’emmundu era balabiddwako nga bambuka olusozi Moroto. Eggye lya UPDF liyitiddwa okuyambako ku mbeera eno,” Ensonda bwezitegeezezza.
“Tubadde tukyali ku mawulire g’abasibe 30 abazuulibwamu ekirwadde ki COVID-19 kati ate amasasi gali mukubwatuka mu kibuga Moroto,” Omu ku batuuze atayadde kwatuukirizibwa mmanya bweyanyonyodde.
Omwogezi w’amakomera Frank Baine yakakasizza okutoloka kw’abasibe bano.
“Kituufu, waliwo abatolose naye ebisingawo tujja kubibategeeza,” Mbaine bweyagambye.
Kinajjukirwa nti guno ssi gwe murundi ogusoose abasibe okutoloka, mu mwezi gwa Gatonnya 2006 abasibe 10 batoloka oluvanyuma lw’okutemula omukuumi w’ekkomera eyali ku ddaala lya Kopolo Walter Ocharia.
Mu mwaka gwa 2008, era abasibe musanvu bakubwa amasasi nebatuusibwako ebisago nga bagezaako okutoloka.









