Bya Ssemakula John
Kampala
Abamu ku basawo b’eddwaliro ekkulu e Mulago basongeddwamu okubeera emabega w’omuzze gw’okubba abalwadde mu ddwaliro lino nebabatwala mu malwaliro g’obwannanyini.
Kino kibotoddwa akulira eddwaliro lino Dr Baterena Byarugaba eggulo ku Lwokuna bweyabadde n’abakungu ba Minisitule y’ebyobulamu nga boogerako eri bannamawulire.
Dr. Baterena agamba nti byebakazuulawo biraga nti waliwo bakayungirizi abalinda abalwadde mu bifo awasimba emmotoka ku ddwaliro lino wamu n’abasawo ababuzaabuza abalwadde nebabatwala mu malwaliro agaliraanye Mulago.
Ono yalaajanidde abakulu mu Minisitule okubaako kyebakolawo kuba omuzze guno gutadde obulamu bwa bannayuganda mu matigga.
Dr. Baterena yawadde eky’okulabirako ky’omwana eyagyibwa e Mulago natwalibwa mu ddwaliro ly’obwannanyini kyokka nalongoosebwa bub inga kati ensonga ziri mu kkooti ekitatanye ekifananyi ky’eddwaliro lino.
Bino webijidde nga Minisita omubeezi ow’ebyobulamu Robinah Nabbanja yatandikawo okulambula eddwaliro lino buli Lwakuna okusobola okutereeza emirimu wamu n’okutumbula obuweereza nga alwanyisa obulyi bw’enguzi.
Kinajjukirwa nti mu mwaka 2019, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yalagira amalwaliro agatunda eddwaliro naddala mu ddwaliro lino okuggalawo nga agamba nti bano bali bawandikira abalwadde eddagala eriri mu malwaliro gaabwe olwo nebabasindikayo okuligula.