Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Bulange
“Ensonga z’ebyensimbi, eby’obujjanjabi, ebyenjigiriza, n’ezigwa mu kkowe eryo zikwata ku buli muntu mu kiti kye era zigatta abantu olw’obukulu bw’azo era kikulu abantu okuzissaako amaanyi kyongere okubakuumira awamu awatali kweyawula” Owek. Nsibirwa.
Bw’abadde atikkula oluwalo ku lwa Katikkiro, Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa agambye nti mu kaweefube w’Obwakabaka okusitula omutindo gw’embeera z’abantu, kikulu nnyo enteekateeka z’obwakabaka okutuuka mu bantu abatebenkedde. Bwatyo asabye abantu ba Buganda okwewala ebibaawula kibayambe okugenda mu maaso.

Oweek. Nsibirwa aliko ensonga z’asabye Abaami ba Kabaka bazisseeko essira mu kaweefube w’okusitula omutindo, kuno kuliko;
1). Abaami ba Kabaka okufuba okutuuka ku buli muntu wa Kabaka yonna gy’ali, bakubirize abantu okuwuliriza buli ebiva embuga ate bettanire enteekateeka Kabaka z’abaleetera, omuli SACCO n’ebibiina by’obwegassi, ensiisira z’ebyobulamu, era kikulu abantu okubamanyisa ku nteekateeka zino bazeenyigiremu era baziganyulwemu.
2). Okutuusa obubaka mu bantu obw’okusitula omutindo, mu byenjigiriza, ebyobulamu, amaka gaabwe na mu buli kye bakola balinnyise omutindo.
3). Okukubiriza abantu ba Kabaka okulinnyisa omutindo mu kuwayo oluwalo.
Oweek. Waggwa yebazizza okuwayo oluwalo mu ngeri ezitali zimu mu nsimbi enkalu, mu ntambula ebatuusa e Bulange n’ebiseera bye bateekamu.
Minisita wa gavumenti ez’Ebitundu n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, asomoozezza abantu ba Buganda ku kuddiza Ssaabasajja Kabaka ekyo ekigwaana okusinziira ku bintu byakoledde Amasaza ge era kubanga Nnyinimu ngabo nnene mu kugoba obwavu, obutamanya, mu bantu n’olwekyo kikulu okumuddiza nga bayita mu luwalo.
Owek. John Kankaka, Omwami w’Essaza Mawogola, yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okubawa ‘tractor’ ebayambeko mu kulima era agamba bagikozesezza bulungi era sizoni eno basuubira amakungula mangi kubanga abantu be Mawogola banyiikiridde okulima emmwanyi ate n’okutegeera amakulu g’oluwalo era balujjumbira yadde ebyobufuzi ebibaddewo bibataagudde nnyo.

Oweekitiibwa Kawuki asanyukidde nnyo enkulaakulana eteereddwa ku mbuga ye Ggombolola Ssaabagabo Ntuusi ey’okulimirako emmwanyi ate n’eddaabirizibwa bulungi, n’annyonnyola nti kikaluubiriza nnyo okukuuma ettaka nga tekuli kikolebwako, bw’atyo n’asaba Abaami b’eggombolola endala okutwala eky’okulabirako kino baddaabirize embuga ze ggombolola zaabwe zisobole okulabika obulungi.
Ggombolola ezikiise leero zireese oluwalo lwa bukadde 23,540,000 nga zino zivudde mu Ssaza Mawogola ne Bulemeezi. Essaza Mawogola wavuddeyo eggombolola 4; Ssaabaddu Mateete, Ssaabagabo Ntuusi, Ssaabawaali Mijwala ne Mut. I Lugusulu ate mu Bulemeezi eggombolola emu eya Mut. III Nnyimbwa.









