Omukubiriza w’olukiiko lw’abaami b’Amasaza mu Buganda, Pookino Jude Muleke aweerezza okusaasirakwe eri Ssaabasajja Kabaka olw’okufiirwa musajjawe, Alex Kikonyogo Kigongo, Ssekiboobo eyawummula.
Ono yafudde kikutuko eggulo e Mukono bweyabadde agenze okwegulira amawulire.
Muleke agambye nti okufa kwa Kigongo ddibu ddene eri Ssaabasajja Kabaka wamu n’Obuganda okutwalira awamu.
Obubaka mu bujjuvu
Omukubiriza w’olukiiko lw’Abaami ab’amasaza mu Buganda, atuusa
okusaasira kw’ab’amasaza bonna eri Ssaabasajja Kabaka olw’okuviibwako
musajjawe enkwantangabo Oweek. Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo-
Ssekiboobo eyawummula.
Tusaasidde nnyo ab’enju ye bonna, bannakyaggwe
bonna wamu ne Ssekiboobo aliko olw’okufiirwa Musajja wa Kabaka oyo.
Twebaza omugenzi olw’emirimu emirungi gy’eyakoledde Obuganda
n’okusingira ddala okuzza ekitiibwa ky’e Ssaza Kyaggwe.
Ffe abaami mu Masaza, tujja kusigala nga tumuyigirako era nga tumwenyumirizaamu.
Tusaba Katonda, omwoyo gwe aguwummuze mirembe.
Gutusinze nnyo Ayi Beene, twakuumye bubi!