Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda okuyita mu Minisitule y’Ebyobulimi, n’eyabavubuka wamu n’ebitongole Kabaka Foundation ne BUCADEF, butegese omusomo eri abavubuka ogukwata ku byobulimi era guno gutambulidde ku mulamwa ‘Omulimi Kkungwa’.

Katikkiro Charles Peter Mayiga obubaka bwe abutisse Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule era y’agguddewo omusomo guno.
Mu bubaka bwe Katikkiro akubirizza abavubuka okwettanira emisomo gy’ebyobulimi babeeko amagezi ag’ekikugu ku byobulimi ge bafuna nabo kibasikirize okwenyigira mu bulimi n’obulunzi.

Katikkiro era asabye abavubuka okutandika n’ettaka ettono lye balinawo bave mu kulinda okufuna yiika z’ettaka nti olwo balyoke batandike, ategeezeza nti ebyobulimi ekiseera kiwanvu biwaniridde amaka mangi mu Buganda, nga ne mu kiseera kino omuvubuka anaalabuka amangu n’atandika obulimi ajja kuwangula bingi.
Minisita w’abavubuka mu Buganda Oweek. Ssaalongo Robert Serwanga ate ng’ono mulunzi era yenyigira mu byobulimi abadde omu ku basomesa, era ono essira alitadde ku nsonga ya kwetegeka ekimala. Akubirizza abavubuka mu buli kintu kye bakola oba kye bateekateeka okutandika basookenga kwetegeka beewale ebizibu ebijjira mu kukola nga tewegese.
“Mufunye omusomo leero era muliko bye muyize naye tekitegeeza nti kati mubuukire bye muyize, obulimi n’obulunzi ssi byangu, tebyetaaga kupapira wabula okusooka okwetegeka okusobola okugoberera emitendera emituufu mu buli kye mwagala okukola, kyokka muteekeyo omwoyo ku byobulimi kubanga mu Uganda ey’enkya bye bigenda okubaamu abagagga.” Owek. Serwanga.
Ssenkulu w’ekitongole ki Kabaka Foundation Omuk. Eddie Kaggwa Ndagala asabye abavubuka abatikkiddwa okuva mu by’okunoonya emirimu egitaliiwo wabula benyigire mu bulimi nti kubanga obugagga mwe busibuka n’okusinga emirimu gya woofiisi gye bayayanira. Ono ategeezeza nti nga bayita mu mikago egy’enjawulo gye balina bagenda kwongera okunonyeza abavubuka emikisa egy’enjawulo mu byobulimi, omuli emisomo, okulambula abalimi ab’amaanyi, okubafunira ente n’ebirala.
Ye Ssenkulu w’ekitongole ky’Obwakabaka ki BUCADEF, Omuk. Alfred Bakyusa awabudde abavubuka abali mu by’obulimi okubaako n’emirimu emirala gye batandikawo kibayambe okugaziya ku nfuna yaabwe. Ono naye akubirizza abavubuka obutanyooma bya bulimi wabula banonyemu emikisa nabo mwe basobola oluggya ensimbi n’okwekulaakulanya.

Omusomo guno gwetabiddwako abavubuka ba Buganda okuva bibiina eby’enjawulo, abavudde mu Masaza n’amasomero.









