Bya Yusuf Muwuluzi
Masaka- Buddu
Olunaku lw’eggulo nga 8/3/2021, abakyala b’e Masaka ne Kalungu mu Buddu, nabo beegasse ku bakyala abalala bonna mu nsi okukuza olunaku lw’abakyala.
Mu musomo ogwayindidde ku Maple Leaf Hotel mu Masaka, nga gwategekeddwa aba Idea Gender and Technology Initiative, abakyala baabanguddwa ku mwenkanonkano n’enkozesa ya tekinologiya nga baluubirira enkulaakulana ate nga tebatyoboddwa.
Akulira ekitongole kya Idea Gender and Technology Initiative, Aidah Gukubuuza, yategeezezza nti beegasse ne banywanyi baabwe abalala okulaba nga babangula abakyala kuba Tekinologiya afuuse nsonga nkulu mu by’enkulaakulana era kyeyoleka nnyo mu kalulu akawedde ng’abantu tebasobola kukung’aana olwa Ssennyiga Corona.
“Emitimbagano gyennyini gye giviirako abantu okuvvoola bannaabwe nga noolwekyo kikulu okusomesa abakyala enkozesa y’emitimbagano entuufu.” Aidah bwatyo bwe yayongeddeko.
Omu ku baabadde abasomesa era nga ye mugenyi omukulu, Omukyala Juliet Kakande Nakabuye omubaka omukyala omulonde owa Masaka City, yagambye nti bwe lutuukidde olwaleero ng’abantu bangi bakyalaba omukyala ng’omuntu wa wansi.
“Abakyala bangi babeera n’okutya, okutya okwo tulina okukweggyamu.” Nakabuye bwatyo bwe yawadde abakyala amagezi. Bo abakyala abeetabye mu musomo guno baayogedde ebyo bye baayize omuli obutaweereza bifaananyi bibaweebuula ku Mitimbagano, okukyusa ‘password’ ze bakozesa ku mukutu oluvannyuma lw’ebbanga eggere.
Ate ye Kkansala w’abakadde mu Masaka, Nakanwagi Rehema, yatabukidde abaagala abaami , balowooze ku ky’okusasula abakyala mu maka olw’emirimu emingi gye bakola n’agamba nti kino tekyetaagisa kuba abantu bwe bafumbiriganwa babeera bafuuse omu.