Bya Ssemakula John
Kampala
Ekibiina ky’ebyobufuzi ki National Economic Empowerment Dialogue (NEED) bagamba nti ebikujjuko by’okujaguza olunaku lw’Abakyala mu ggwanga tebikola makulu okuggyako okusaasaanyizaako ensimbi z’omuwi w’omusolo.
Bino babyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire olutudde ku kitebe ky’ekibiina kino e Lubaga nebategeeza nti ensonga eziruma abakyala gavumenti eriko ezikutte bubi.
“Olunaku luno telurina makulu, abakyala batulonda nebatulonda ku mitendera gyawansi naye tetulina woofiisi mwetutuula okuggyako okwebudamya muza basentebe, Tetulina nsonga lwaki tutandika okukumba ku nguudo nga tufa era n’abaana baffe bafa nga bannyabwe bazaala,” Omu ku bakulira abakyala mu NEED, Mildred Nabatanzi bw’annyonnyodde.
Ono annyonnyodde nti abaana abawala bangi abalemererwa okusoma olw’okubulwa ebikozesebwa mu nsonga zabwe ez’ abakyala nebalemwa okutuukiriza ebirooto byabwe.
Nabatanzi agasseeko nti abakyala abafiira mu ssanya olwebikozesebwa ebitono n’abasawo abatafaayo nsonga gavumenti zeyandinogedde eddagala nga tugenda okukuza olunaku lwabakyala.
Abakyala bano era baagala ekifo ky’obukulembeze bw’ eggwanga kituulemu omukyala oba olyawo yanawulira ensonga abakyala zebeemulugunyako kyokka tebabade nabigambo biwoomu eri abakyala abali mu bifo byobukulembeze ebyamanyi. Mu kalulu ka 2021 abakyala ebitundu 51% bebaaketabamu.
Bino webijjidde nga eggwanga lyetegekera okujaguza olunaku lw’abakyala mu nsi yonna olwa ‘International Women’s Day’ olukwatibwa buli 8 Ogw’okusatu buli mwaka.