Bya Musasi Waffe
Minisita w’Ebyobulambuzi n’Obuwangwa Owek. Dr. Anthony Wamala wamu n’abakungu be yatambula nabo basisinkanye abakulu abatwala ekitebe kya Uganda e Japan nebateesa ku nsonga ez’enjawulo.
Mu nsisinkano eno abakulu bano bakubye ttooci mu bituukiddwako oluvannyuma lw’omwoleso gw’ebyobuwangwa n’obulambuzi mu mawanga ag’enjawulo okukomekerezebwa.
Ssenkulu w’ebitongole ky’Ebyobulambuzi mu Buganda ki Buganda Heritage and Tourism Board (BHTB) Omuk. Albert Kasozi, ategeezeza nti bingi bye bayize mu Mwoleso guno, era basiimye n’enkolagana etuukiddwako n’abantu ab’enjawulo gy’agambye nti yakubayamba nnyo okwongera okutumbula ebyobulambuzi era n’omwaka ogujja bajja kwetaba mu mwoleso guno okwongera okuyiga.
Kulwa Bboodi etwala eby’obulambuzi mu Bwakabaka, Omuk. Farooq Busuulwa ategeezezza abakungu bano nti basanyukidde nnyo eky’okulaba nti abantu bangi beeyunidde omuddaala Buganda kw’eyoleserezza, era ne basiima ne byebasanze ku muddaala.
Omuk. Busuulwa agasseeko nti nabo bakozesezza omukisa gw’omwoleso guno okulambula ebintu bingi kwe baggye eby’okuyiga bye bagenda okuteeka mu nkola nga bakomyewo eka okwongera okutumbula ebyo Buganda byerina.