Bya Ssemakula John
Masaka
Abakulira okuteekerateekera ekibuga Masaka baweze mbagirawo okugula n’okutunda obupoloti obutono mu kibuga Masaka kino kiyambe okukiteekerateekera obulungi.
Omuteesiteesi omukulu ow’ekibuga kino, Martin Kigozi ategeezezza nti okuva Masaka lwe yafuulibwa ekibuga, babulooka b’ettaka bagufuddeomugano era nga bano basuubula ettaka nebalisalasalamu obupoloti obutono obuli wansi wa 50 ku 100 okwenogera ku nsimbi.
“Poloti 20 ku 30 gy’oguze mpozzi ng’ogenda kugisimbamu bimuli naye tetugenda kukkiriza kugizimbamu, tetujja kukkiriza kugiteekamu kintu kyonna kaabe Lubaale kaabe Katonda,” bw’atyo Kigozi bw’agambye.
Kigozi abaagala okugula ettaka mu Masaka abasabye okwewala babulooka kuba bo baagala kimu ssente naye beebuuze ku baddukanya ekibuga.
Etteeka erirung’amya okuteekerateekera ebibuga erya ‘Physical Planning Act-2010’ nga lino lyakoleddwamu ennoongosereza mu 2020 liwa abakulira ebibuga obuyinza okulaba nga bikula era nga bikulaakulana mu ngeri eteekeddwateeddwa obulungi.
Ono annyonnyodde nti babulooka b’onoonye enteekateeka y’ekibuga kino nga bateekawo obuguudo obutono obutuuka ku bupoloti buno bwe basala,ekintu ekimenya amateeka.
Kigozi alabudde abagula obupoloti buno beewale okubugula kubanga bajja kwesanga nga baguze obupoloti mu bifo ebirina okuteekebwamu amakolero ate bafiirwe ssente zaabwe.
Okusinziira ku Kigozi mu kiseera kino bali mu kusomesa bantu omugaso gw’okufuna pulaani wamu n’okubeera n’ekibuga ekiteekeddwateekeddwa obulungi n’alabula nti mu maaso awo bajja kukozesa ku mukono ogw’ekyuma.
Ono annyonnyodde nti kino kikotoggera enteekateeka zaabwe wamu n’enfaanana y’ekibuga kino.
Kinajjukirwa nti Masaka kye kimu ku bibuga ebiggya ebyatongozebwa gavumenti ng’ebirala kuliko; Arua, Mbarara, Gulu, Jinja, Mbale, Fortportal awamu n’ebirala.