Bya Betty Namawanda
Lwengo
Abakulembeze mu kitundu ky’e Masaka baweze okulwanyisa ettemu ly’ebijambiya eriri mu kitundu ky’e Buddu eritutte abantu abasoba mu 27 n’abalala ne baddusibwa mu ddwaliro nga bali mu mbeera mbi.
Bano okwabadde omubaka omukyala ow’e Lwengo, Cissy Namujju ne bassentebe b’ebyalo mu ggombolola y’e Kkingo e Lwengo, baasisinkanye abatuuze n’omubaka wa Pulezidenti Jjuuko Kasiita, okutema empenda ku ngeri gye basobola okulwanyisa ekizibu kino.
Abakulembeze bakkaanyizza okukolera awamu era obukiiko bw’ebyalo bwekolemu ekibinja ky’abantu 10 basule nga balawuna ebitundu byabwe, balwanyise obutemu buno.
Bano bannyonnyodde nti mu Lwengo yekka abantu abawera 15 be baakatemulwa mu bbanga lya mwezi gumu era bakyagenda mu maaso n’okusuula ebipapula ebirabula abantu okwerinda, kuba bajja kubakolako.
Okusobola okutuukiriza enteekateeka eno, omubaka Cissy Namujju yawaddeyo ttooci ez’omulembe ezibalirirwamu obukadde 2, okusobola okunyweza ebyokwerinda.
Omubaka Namujju yasinzidde wano n’asaba abazadde okukuza obulungi abaana, kiyambe eggwanga okuvvuunuka obuzibu bw’ebijambiya kuba ebikolwa bino birabika birimu n’abaana enzaalwa.
Ye Ssentebe w’abavubuka mu disitulikiti y’e Lwengo, Mutesasira Gonzaga, yasabye abayita enkiiko ezinaayamba okunyweza ebyokwerinda mu buli LC obutalekayo bavubuka kuba be balina embavu okusobola okulwanyisa abatemu bano.
Ate ye Ssentebe w’eggombola y’e Kkingo, Aloysius Kibira,agamba nti bali bulindaala okufaafagana n’abeebijambiya nga bakozesa emiggo, amafumu n’amayinja era n’asaba abatuuze okukolera awamu
Wabula omukwanaganya wa poliisi n’omuntu waabulijjo mu bbendobendo ly’e Masaka, Afande Ssande, yakuutidde abatuuze okunyweza enkolagana wakati waabwe n’abakulembeze wamu n’abeebyokwerinda, okusobola okuvvuunuka embeera eno.
Ono era yasabye abatuuze abalina amawulire agayinza okubasuula mu buufu bw’abatemu bano, okubatuukirira mu kyama.