Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Namwama Augustine Kizito Mutumba akoowodde ebika eby’enjawulo okusembeza abazzukulu abakuguse mu buyigirize obw’enjawulo babateeke mu bukulembeze bw’ebika olwo basikirize n’okuwa ekyokulabirako eri abalala.

Okwogera bino, Nnamwama abadde ayaniriza Bakatikkiro n’abamyuka ba bakatikkiro abaggya mu bika bisatu eby’enjawulo; Omutima, Empologoma ne Akayozi nga bayanjuddwa mu Lukiiko lw’Abataka Abakulu Abobusolya ku mukolo ogutegekeddwa ku Bulange e Mmengo.
Namwama agamba nti Obwakabaka bwagala abaweereza aba buli langi mu bika naddala abalina obusobozi nga abakulu abayanjuddwa mu bukulembeze olwa leero okubadde bannamateeka, ababaririzi b’ebitabo n’abalala abakugu mu buvunanyizibwa obw’enjawulo kyongere okuggumizza enkola n’enteekateeka y’emirimu olwo kisikirize abalala okwesowalayo okuweereza ebika byabwe.
Omutaka Namwama akubirizza ebika okukulaakulanya obutaka bwabwe n’okubulinyisa omutindo okusobola okukuuma n’okugyayo ekitiibwa ky’ebika nga ababitandikawo bwe babyagala bibeere.
Namwama, mu kaseera ke kamu, akubirizza abantu ba Buganda obutatya kwogera lulimi lwabwe baluyigirize n’abaana kubanga mu lulimi mwe bayita okumanya ennono n’obuwangwa bwabwe.Katikkiro w’Ekika ky’Omutima omuggya ayanjuddwa Omutaka Kakeeto Bbaale Namugera ye Mw. Kiteke Mujjuzi Fredrick nga yazze mu bigere bya Mw. Luberenga John Mary.
Ku lw’Omutaka w’Ekika ky’Empologoma, Katikkiro w’Ekika kino Omutaka Patrick Kisekka Ddungu ayanjulidde Olukiiko Omumyuka Asooka Omulangira Ssaalongo Kiyimba Herman n’Omumyuka Owookubiri Mw. Kisekka Eddie.
Omutaka w’Ekika ky’Akayozi Omutaka Kafumu Batuuka Kizito ayanjudde abamyuka ba Katikkiro; Katikkiro Wasswa Bakayimbudde Peter nga y’Asooka ate Mw. Joseph Lwanga Ssendaaza y’Owookubiri.

Bonna abanjuddwa beyamye okukulemberamu enteekateeka zonna mu bika byabwe nga bagatta kw’ebyo ebikoleddwa be badidde mu bigere wamu n’okuweereza ebika byabwe n’Olukiiko lw’Abataka mu bwesimbu ate nga tebatiiriridde Ssaabasajja.









