Bya Noah Kintu
Ssembabule
Abakulembeze ku disitulikiti y’e Ssembabule bakubye ebirayiro era ne basuubiza okutambulira awamu n’Obwakabaka okukyusa embeera z’abantu mu kitundu kino.
Okulayira kuno kubadde ku kitebe kya disitulikiti y’e Ssembabule era kukuliddwamu omulamuzi omukulu ow’e Masaka, Charles Yetise era nga ku balayidde ku baddeko bassentebe ku mitendera egy’enjawulo awamu ne bakkansala abaweredde ddala 37.
Ssentebe wa disitulikiti eno omulonde, Nkalubo Patrick, yasoose okulayira era n’asuubiza abatuuze nti waakukolagana ne Muteesa kuba balina okutuusa empeereza ennungi ku bantu ba Nnyinimu mu kitundu kino.
“Ssebo Muteesa tujja kolera wamu naawe kubanga tumanyi wano we tuli wa Kabaka kuba Ssaabassajja bw’aba azze mu Ssembabule, asula ku mbuga ye wano we tuli, ekitegeeza nti aba asuze wuwe. Tujja kukwasiza wamu nammwe mutuukirize tukole nga bwe tubadde tukola, kuba Kabaka tagoba ffenna tuli bantu be. ” Nkalubo Patrick bw’agambye.
Ssentebe Nkalubo asabye bakkansala okukolera awamu nga baweereza abantu era n’abalabula obutaganya muntu yenna kuzannyisa nsimbi za gavumenti.
Bw’amaze okulayira ono, akulira abakozi, Willy Batalingaya, amukwasizza ebikola mu woofiisi mu butongole era n’amusaba okukulembera obulungi abantu.
Muteesa Sserwadda Muhammad asinzidde ku mukolo guno n’agamba nti ssentebe Nkalubo aggyeeyo bulungi ekinyusi bw’akkiriza nti ettaka kwe bali lya Ssaabassajja Kabaka era n’amusaba okuteekawo enkolagana ennungi emirimu gisobole okutambula.
Oluvannyuma lw’okulayira, okulonda kwa sipiika omupya kugenze maaso era ne kukomekkereza nga Kasozi Erias awangudde bwe babadde ku mbiranye, Ssebuggwawo Julius, n’obululu 20 ate Ssebuggwawo Julius n’afuna 17.
Alondeddwa nga sipiika Kasozi Erias asuubiza okukolagana ne banne obulungi era akole ekisaanidde okutumbula eby’enjigiriza kw’osa obulimi n’obulunzi.