Bya Huzair Jjuuko Wasajja
Mmengo – Kyaddondo
Abakulembeze b’abayizi mu masomero g’amabujje ne pulayimale abeegattira mu kibiina ki Uganda National Primary and Junior school Head Prefects Association bakiise embuga n’oluwalo lwa nsiimbi enkalu ezisobye mu bukadde bubiri (2,000,000), Katikkiro Owek. Charles Peter Mayiga bano y’abatikkudde mu bimuli bya Bulange e Mmengo.

Katikkiro asinzidde wano n’akubirizza abazadde n’abasomesa okutegeka obulungi abaana nga bakyali bato naddala mu nsonga z’obukulembeze basobole okuvaamu abakulembeze abanaanunula Africa.
“Tulina okusoomooza kunene nnyo mu Africa ku ludda olw’obukulembeze, mu Africa abakulembeze abasinga tebeesigika, tebalina bwesimbu, tebalina buvunanyizibwa, tebeewayo, baagala bwagazi bitiibwa nga tebabikoleredde, kati twagala abaana bave buto, tufune ebiseera ebirungi eby’omumaaso, bw’oba otegekera emirembe egijja otandika leero kubanga ebaatu baagyo be baana abato kati, tulina okusiga mu baana abato ennyingo z’obwerufu, obwesimbu n’okwefiiriza tusobole okufuna abakulembeze b’ebiseera by’omumaaso ebirungi” Katikkiro Mayiga.

Kamalabyonna akubirizza abakulembeze b’abayizi okubeera okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe wamu n’okutema empenda ezigonjoola n’okuvvunuka ebizibu basobole okufuna ekitiibwa mu bayizi be bakulembera. Wano we yebalizza abazadde n’abasomesa abafuddeyo okutegeka obulungi abaana naddala mu nsonga z’obukulembeze nga babayigiriza okwekiririzaamu, obumalirivu, okwogera mu bantu n’okumanya obuvo bwabwe era wano asanyikidde eky’abayizi okuwaayo oluwalo nabo okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe mu kuzimba Buganda.
Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebituntu n’Ensonga z’Abantu ba Buganda Ebweru Owek. Joseph Kawuki ayozayozezza abakulembeze bano olw’okufuna obukulembeze nga bakyali bato era n’abakuutira okukozesa obukugu bwe bafuna mu bifo eby’obukulembeze basobole okutangaaza ebiseera byabwe ebyomumaaso wamu n’okunyiikirira emisomo gyabwe.
Omulangira Victor Ssansa nga ye muyima w’ekibiina ekigatta abayizi bano asinzidde wano ne yebaza Obwakabaka olw’okusembezanga ba musaayi muto ne bafuna amagezi ag’enjawulo n’okumanya gye basibuka, era ono agamba nti baakwongera okukunga abayizi mu masomero okwetaba n’okutegeera enteekateeka z’Obwakabaka.

Nabatanzi Dielah okuva ku Gayaza Junior School nga ono ye mukulembeze w’abayizi mu kibiina kino yebazizza katonda olw’obulamu bwa Ssabasajja Kabaka era n’amwagaliza amazaalibwa amalungi ag’emyaka 71. Ono naye atenderezza Obwakabaka olw’okubeera n’abakulembeze abawa ekyokulabirako ekirungi eri emiti mito.
Omukolo guno gwetabiddwako Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, Abasomesa n’abakulembeze b’abayizi ag’enjawulo.









